TOP

Kandida taakose bbebi?

Added 21st October 2019

Ssenga bwe nafuna olubuto kandida yagaana okugenda, nkoze ntya, kubanga kati buli kiseera mbeera mu kwetakula olwa kandida. Taakose mwana mu lubuto?

 Omukazi w'olubuto

Omukazi w'olubuto

Ssenga bwe nafuna olubuto kandida yagaana okugenda, nkoze ntya, kubanga kati buli kiseera mbeera mu kwetakula olwa kandida. Taakose mwana mu lubuto?

Kandida bulwadde abakyala abalina embuto bwe bafuna. Era obufuna kubanga olubuto lukyusa embeera y'omubiri kale ‘obuwuka' obuli mu bukyala ne bweyongera era n'ofuna kandida. Kandida sigaanyi bulwadde bwa kikaba oluusi naye oluusi omufuna ng'embeera mu mubiri ekyuse katugambe ng'oli lubuto ng'ogenda kulwala omwezi, ng'olina obulwadde mu mubiri nga sukaali, oluusi siriimu n'ebirala ng'ebyo.

Omanyi mu bukyala tulina obuwuka obuyitibwa ‘fungus' nga buno bukuuma obukyala obutafuna ndwadde.

Ekirala abakyala abamu bambala ‘bikers' oba obuwale nga bukwata nabwo buleeta kandida, kubanga yeezira mbeera ya bbugumu.  Obuwale olina okubwoza n'obwanika mu musana.

Kansubire nti weesalira bulungi ate oyambala obuwale obwa ppamba. Naye ssinga okozesa ‘yogurt' oba bbongo nga taliimu sukaali ayambako okukkakkanya embeera.

Ono omuteeka mu bukyala munda. Ne katunguluccumu naye ayambako olwo n'okozesa n'eddagala ezzungu.

Naye kandida talinga nziku, kabootongo, oba embaluka. Anti si bulwadde bwa kikaba newankubadde ffe abakyala tusobola okusiiga omusajja naddala nga mucaafu.

Kale kandida takosa mwana mu lubuto.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...