TOP

Omukazi annangira obwavu

Added 22nd October 2019

Ssenga, mukyala wange simutegeera bulungi. Okusookera ddala yali mukyala muwulize naye kati tawulira n’akamu. Bw’omugambako ng’atandika okuyomba. Mbadde sirina ssente ennaku zino nga sirina mulimu naye buli kiseera anvuma obwavu.

 Abaagalana nga bayomba.

Abaagalana nga bayomba.

Ssenga, mukyala wange simutegeera bulungi. Okusookera ddala yali mukyala muwulize naye kati tawulira n'akamu.

Bw'omugambako ng'atandika okuyomba. Mbadde sirina ssente ennaku zino nga sirina mulimu naye buli kiseera anvuma obwavu.  

Kati n'okwegatta tayagala era buli kiseera ang'amba nti agenda kundekawo. 

Atandise okugula engoye naye simanyi ssente gy'aziggya kubanga atuula waka naye oluusi simusangawo. Bwe mmubuuza agamba nti sirina kumanya.

Ssenga nkoze ntya? Okunvuma waakiri nsigala obwomu kubanga era simulinaamu mwana. Mmaze naye emyezi mukaaga.

 

Mwana wange bw'olaba ng'omukyala oba omusajja akuvuma obwavu mu butuufu abeera akwetamiddwa. Ate oluusi y'embeera gye mubaamu naye nga munno teyandifulumizza kigambo ng'ekyo.

Kubanga osobola okukyogera ne munno nga muteesa nti owange ssente nga zibuze oba tukoze tutya.

Naye oyo avuma aba akoze bubi. Kubanga amaka mangi mu Uganda kigambo kubulwa ssente kya bulijjo. Naye okuvuma munno nti mwavu kyokka nga yaliko ne ssente era ne muzirya mwembi si kya buntubulamu.

Kitegeeza nti omuntu oyo okusinga ayagala ssente zo. Era bw'oba tolina ssente talaba mugaso gw'olina gy'ali. Naye ssente bakola nkole.

Kati mwana wange oba ono ayambala n'engoye ez'ebbeeyi ate ng'oluusi okomawo nga taliiwo kitegeeza nti atandise okufuna ssente mu makubo amalala.

Ayinza okuba ng'alinayo omusajja omulala. Omanyi omukyala bw'atandika obutakulabawo oba omusajja bw'atandika okufulumya ebigambo ng'ebyo ng'omanya nti alina amusigula. 

Bw'oba tolina mirembe, sooka omubuuze lwaki akuyisa bwatyo. Bw'olaba ng'akubadala, tandika okwetegereza empisa era bw'oba olaba nga tojja kumusobola ng'omwesonyiwa.

Ate olabika wapapa kubanga ow'emyezi omukaaga ng'akedde okukujooga. Ddaala ono anaafumba? Oba yakunoonyaako ssente? Weetegereze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Walukagga ne muwala we e Maya.

Omuyimbi Walukagga awonye o...

Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence...

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...

Omugenzi Takia Namijumbi.

Eyali RDC w'e Mityana afudde

HAJATI Takia Namijumbi eyaliko omubaka wa Pulezidenti (RDC) e Mityana n'e Mpigi afudde enkya ya leero. Waafiiridde...

Omugenzi Omulangira Jjuuko

Eyali ssentebe w'omu Kiseny...

OKUZIIKA kw'Omulangira Jjuuko Mutebi abadde ssentebe wa NRM mu Muzaana zzooni mu Kisenyi mu Kampala era eyaliko...