TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri gye musobola okuzza omukwano mu bufumbo bwammwe

Engeri gye musobola okuzza omukwano mu bufumbo bwammwe

Added 30th October 2019

 Manya ekizibu we kiva. Tosobola kunogera kizibu ky’otomanyi ddagala, noolwekyo omukyala oba omwami ng’owulira obufumbo okyabwagala, noonyereza ekizibu kwe kiva okisalire amagezi.

ENGERI GYE MUSOBOLA OKUZZA OMUKWANO MU OBUFUMBO BWAMMWE

 Manya ekizibu we kiva. Tosobola kunogera kizibu ky'otomanyi ddagala, noolwekyo omukyala oba omwami ng'owulira obufumbo okyabwagala, noonyereza ekizibu kwe kiva okisalire amagezi.

 Weewale okukozesa okuyomba okugonjoola ensonga. Okugeza, ssinga munno abadde akomawo nga bukyali n'atandika okudda nga buyise ate bw'adda totandikira mu kumuyombesa lwaki aluddeyo. Mubuuze gy'abadde era omulage nti obadde otidde nnyo nga tomulaba.

 Yogera ne munno. Obutakkaanya bwe bubalukawo bulina kusooka kumalwawo bantu babiri. Abantu abamu balina omuze ogutwala ebintu nga ebyomuzannyo ne weekanga nti gwe ky'olaba ng'ekitono munno akitwala nti kinene era kimunyiiza.

 Okuddamu okumanya obuvunaanyizibwa bwo ng'omuntu. Ebiseera ebisinga obufumbo butandika okuyuuga ssinga omu atandika okwerabira obuvunaanyizibwa bwe. Okugeza, omusajja nga mu kisenge obuvunaanyizibwa tokyabutuukiriza oba awaka tokyawaawo budde si nakindi ng'omukyala awaka y'atakyakola by'alina kukola.

TEWEESIBA MU BUFUMBO BWA MAZIGA

Edith Mukisa agamba nti kituufu okufaayo ku kitiibwa abantu kye bakuwa kyokka era omuntu talina kukyewala nti obufumbo bukolebwa kwagalana okubeera wakati w'ababiri.

Era bwe kuggwaawo mulina okulwana ne kuddawo nga muyita mu kwebuulirira n'okubuulirirwa.

Naye byonna ssinga bigaana tewali nsonga lwaki oswala okuva mu kintu ky'okaabiramu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...