
Era nga kiba kizibu abamu okubaako akagambo k'amusonseka wadde ng'oluusi ayinza okuba ng'amusiimye.
BANNABYAMIZANNYO
Mu bano mulimu abakuba ebikonde, abasamba omupiira, abaddusi, ababaka n'abalala.
Abasajja bano oluusi babatya nga balowooza nti balina amaanyi ga nsusso.
Ate abamu bwe baba n'emifumbi kiyitirira olwo ne babalabira ddala mu kifaananyi ky'abasajja.
BALOOYA
Engeri gye baba baasoma amateeka, abasajja abamu babatya nga balowooza nti buli kantu bajja kukulembeza luteekateeka abasajja abamu kye bayinza okutwala ng'olugezigezi olusukkiridde.
Ekiti mwe babalabira, kya kukulembezanga lulimi lw'amateeka mu buli kimu nga mw'otwalidde n'engeri kwe balina okutambuliza amaka gaabwe.
BANNABYABUFUZI
Bano nabo babatya kubanga bakulembeze abasalirawo eggwanga. Noolwekyo balowooza nti osanga n'ensonga z'amaka bayinza okuzikwasa omukono omukakali nga bwe bakola mu byobufuzi.
Bano era tebaawukana na balooya kubanga abasajja babalabira mu kiti kye kimu.
BANNAMAWULIRE
Bano nabo abasajja babatya olw'omulimu guno kubanga balabibwa abantu bangi aba buli kika ekibalowoozesa nti bw'oba omuwasizza kiyinza okukubeerera ekizibu okuwangaala naye.
Engeri abaamawulire gye bataba nnyo na ssaawa kwe bakolera mirimu gyabwe, waliwo abakiraba ng'omukazi ow'ekika kino omuzibu w'okufuga kubanga bakama be bayinza okumwetaaga essaawa yonna ng'alina okugenda okukwata amawulire.
Abaamawulire abamu bakamabaabwe babatuma mu ηηendo empavu oluusi n'ebweru w'eggwanga nga balina okumalayo ebbanga.
Kino abasaja batono abakigumiikiriza.
ABAKOZI B'OMU BBAALA
Embeera y'omulimu guno nayo si nnyangu ya musajja kugamba ku muwala akola mu bbaala n'ekigendererwa eky'okumutwala amutokoseze ettooke.
Abasajja bangi abawala bano babalabira mu kiti kirala nga balowooza nti bazibu okuteeka mu maka ne bagumiikiriza.
Abasajja abamu balowooza nti n'obudde bw'emirimu gyabwe buba bugenda kubakaluubiriza embeera y'obufumbo nga w'amwetaagira ate ye aba ku mulimu. Waliwo n'abalowooza nti engeri gye basisinkana abasajja abangi, kizibu okumubeerako obw'omu.
ABASOMESA
Bano nabo abasajja abamu babatya nga bagamba nti baba n'olugezigezi lungi noolwekyo babalabamu engeri eyinza okwagala okutambuliza amaka gaabwe ku Luzungu olusukkiridde.
ABAYIMBI NE BANNAKATEMBA
Omukazi omuyimbi ne munnakatemba abasajja bangi bagamba nti basaana omusajja nga talina bbuba kubanga kumpi buli w'alaga abasajja baba bagwirana.
Bano olulinnya ku siteegi abasajja ababa mu bivvulu babayaayaanira okubakwatako n'okuzina nabo. Embeera eno abasajja abamu bayinza obutagigumiikiriza.
ABASAMIZE
Bano nabo abasajja babatya nga balowooza nti bayinza okubaloga ne babalekamu kasala kkubo.
Abamu ku basajja batutegeezezza nti omukazi omusamize bw'omuwasa amaka aba agenda kugatambuliza ku kutiisatiisa n'okukutambuliza ku bunkenke ng'otya okukuloga.