TOP

Lwaki omwana takula bulungi?

Added 30th October 2019

NNINA emyaka 23. Waliwo omusajja omukulu gwe nnayagala ne nfuna olubuto naye omwana takula bulungi. Omwami ono yali wa myaka 83 era kati yafa naye abeewaabwe omwana bamumanyi. Omwana kati wa myezi munaana naye tasobola kutuula yekka mba nnina kumuzizika.

Namutwalako ewa ssenga we n'ang'amba nti kirabika omwana si waabwe kubanga tebalina baana balema waabwe. Kati nkoze ntya kuba omwana ansobedde. Ntambudde naye tafuna njawulo.

AMAGI g'abasajja abakulu oluusi tegavaamu baana balamu bulungi. Ekirala olina okumanya nti teri kika kitavaamu balema oba abalina ebizibu nga bino.

Sigaanyi waliyo obulwadde nga bwa mu musaayi nga ssikoselo naye kumpi buli kika kirinayo ekitatuukiridde nga mu musaayi.

Ebiseera ebisinga ssingwa omwana azaalibwa ng'aliko obulemu oba ng'alina ekizibu, abaffamire tebaagala kumukkiriza nti waabwe. Era okilraba nti oluusi n'omusajja ayinza okukuleka singa ozaala omwana alina ekizibu.

Teri ayagala buvunaanyizibwa ku mwana ng'ono. Abaana ng'abo batera kubasibira mu bisenge kuba baba babaswaza.

Ogambye nti otambudde olw'omwana ono naye abamu batambulira mu masabo n'okweraguza ng'ate kya butonde omwana okuzaalibwa bwatyo.

Genda mu ddwaaliro eddene olabe omusawo akola ku baana ajja kukuyamba. Oluusi n'endya embi ereeta obuzibu.

Ssenga sooka omwesonyiwe oyambe omwana wo kubanga kati oli wekka. Nkubira essimu nkuyambe ku musawo gw'olina okulaba. 0772458823.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...