TOP

Obufumbo bw'emiggo bwannema

Added 2nd November 2019

NZE Mariam Kagoya, 44, mbeera Komamboga mu Kawempe. Mu buvubuka bwange, nafuna omusajja eyahhamba nti bwatunula mu nsi yonna nze mukazi gw’asaana okuwasa.

 Kagoya

Kagoya

Okumanya abakazi tulimbibwa, nange nnalaba nga ky'ayogera akikakasa wamma ne ngwa amatu.

Olw'essanyu lye nnafuna, nnabuulirako bazadde bange kyokka ne bang'aana okufumbirwa nga bagamba nti nkyali muto era sinatuuka kufumbirwa.

Ebigambo byabwe saabitwala nga ndabira ddala nti tebanjagaliza era ne nsalawo okugenda ne kabiite wange.

Twatandika obufumbo era ng'andabirira mu buli kimu era ne tuzaala n'abaana babiri wabula omu n'atufaako.

Ekiseera kyatuuka n'atandika okunywa omwenge eyali agula ebintu awaka n'abivaako. Yatandika okunkuba emiggo nga ne bwe tubeera ku bugenyi tekimugaana kunkubirayo.

Natandika okwebuuza gye yajja empisa zityo wamma ne nsoberwa kuba teyazindagirawo mu kusooka.

Natuuka ekiseera nga buli lw'adda awaka n'omutima guntyemuka kuba yatandikiranga ku kantu katono n'ankuba. Oluusi ng'akonkona nga nneebase era w'omuggulirawo ekikwaniriza zibeera mpi.

Emyaka mwenda gye nnamala naye, yankuba ne mpulira ng'obufumbo buntamye era ne nsalawo okumuviira nsobole okutaasa obulamu.

Naguma nga sirina musajja yenna okutuusa mu 2013, Katonda bwe yandeetera Arthur eyansangula amaziga kuba ano ategeera bwe bakwata omukyala.

Tuteesa, tankubangako wadde okunvuma. Abawala abatannafumbirwa, mbasaba bawulirize ebigambo by'abazadde kuba bwe baba bakugaanyi okufumbirwa tobawakanyanga kuba oyinza okutuuka mu bufumbo ne wejjusa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minista Haruna Kasolo ng'asomesa ku kwekulaakulanya n'enkozesa y'ensimbi za MYOOGA

Abatuuze b'ekira basomesedd...

MINISITA omubeezi akola kunsonga z'ebibiina byobwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, akubiriza abantu okwebereramu nga...

Aba Twaweza bafulumizza ali...

KUNOONYEREZA kuzudde nti ab’enganda okusaba abantu babwe sente okubayambako okuvvuunuka embeera kifuuse kyabulijjo...

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...