TOP

Owange Katondayamumpa nga kirabo

Added 2nd November 2019

NZE Ghetto King Samiyo 27, ndi muyimbi mbeera Masajja B. Nga naakavubuka nali neegomba okufuna omukyala anampa essanyu n’emirembe.

 Samiyo

Samiyo

Katonda mmwebaza nti gwe namusaba yamumpa era mmwenyumirizaamu kubanga yakyusa obulamu bwange.

Twasisinkana ku kabaga ka mukwano gwange era olw'endabika ye, yansikiriza, bwentyo ne nsalawo okwogerako naye.

Twatandika okwogerezeganya ku ssimu n'okweraba twongere okwemanya.  Oluvannyuma twasiimagana ne hhenda mu bazadde be.

Baatuwa omukisa gw'obufumbo bwaffe.Twakamala mu bufumbo emyaka 6 n'abaana babiri.

Ekisinga okunjagaza mukyala wange kwe kuba nti antegeera nnyo era n'engeri gy'ampisaamu okusingira ddala obwesigwa bw'anteekamu newakubadde ali Bulaaya gy'akolera.

Mukyala wange mukozi ate ayagaliza buli muntu. Amazima ono wanjawulo ku bakyala abalala era tukwasaganyiza wamu. Tukoze ebintu bingi ebiraga nti tugenda mu maaso.

Ebbanga lye mmaze ne mukyala wange tetufunanga butakkaanya buyinza kutwawukanya wadde obutonotono tebubulamu era tubugonjoola nga abafumbo.

Yadde mukyala wange yagenda Bulaaya, tatusuulirira era agera akabanga n'akomawo okutulabako n'okumanya embeera gye tulimu n'abaana.

Nsaba Katonda amunkuumire era naye mmusaba anneekuumire kuba nange kye nkola

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...