TOP

Omuwala nnamukyawa lwa butasiima

Added 2nd November 2019

OKWEBAZA omuntu ssinga Isabirye aba alina kyakukoledde kikulu kubanga ekyo kye kimuwaliriza okuddamu okukuyiiyiza ebirungi ebirala. Nze Habib Isabirye 24, mbeera Mukono.

Oluvannyuma lw'okuzuula ekyama mu mwana muwala gwe nnali nsiimye, yakkiriza okutandika omukwano nange.

Twayagalanira mu bugubi obw'ekitalo kuba omulimu gwe nnali nkola tegwansobozesanga kumumalira byetaago bye byonna.

Yalingawo kuba naye yali akola wadde nga yalinga afuna ssente ntonotono kale nga ffembi tuli bamufunampola.

Twakkanya okubeera ffena naye n'asooka agaana kuba bazadde be baali bakambwe ate nga bamwagaliza omuntu alina ku ssente eziwera.

Baamuwalirizanga okunneesonyiwa naye n'annemerako ekyayongera okundaga nti ddala yali anjagala.

Twafuna ennyumba gye twasobola okupangisa ne tutandika okubeera ffembi mu bulamu obweyagaza.

Omuwala ono yalina empisa, nga muyonjo ate nga tamanyi kuyomba kale sirina muze gwe namusangamu.

Ku busente obutono bwe nnafunanga, nagezangako okumuguliranga obulabo n'okumukyakazaako wabula ng'ekigambo weebale takirina mu kamwa.

Nasooka ne nkyesonyiwa era ne kimpaliriza okwerekereza okubaako ke mmugulira nga njagala okumanya ekituufu kyali wabula nga byonna bya busa.

Okwebaza kuviira ddala ku ngeri omuntu gye yakuzibwa era bwe nnamubuulirira nti munnange omuntu bw'abaako ne ky'akuwadde omwebaza ne ndaba nga takyusa ne neetamwa.

Saddamu kumuleetera kintu kyonna ate ne lufuuka lutalo nga tewali ayagala kutunula ku munne.

Ekiseera kyatuuka ne twekoowa era okukkakkana nga twawukanye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....

Fred Enanga

Ettemu n'okusobya ku baana ...

EBIKOLWA by’ettemu n’okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera by’okwekuuma obulwadde bwa ssenyiga era poliisi...