TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ssenga, obusajja bwange bwafuna ebbwa naye ligaanye okuwona!

Ssenga, obusajja bwange bwafuna ebbwa naye ligaanye okuwona!

Added 2nd November 2019

OBUSAJJA bwange bwafuna ebbwa naye ligaanye okuwona. Obujjanjabi nfunye naye tewali njawulo. Kati nkoze ntya kubanga ebyokwegatta maze emyaka etaano era obufumbo bwa ffa. Nnina kookolo oba kubanga ebbwa lino ligenda ne likomawo naye ennaku zino ligaanye okugenda ate lyeyongera kusima. Nze ndaba obusajja bugenda kuggwaawo. Ate liwunya nnyo.

NG'OLABYE mwana wange naye ebbwa lino kirabika libadde terifuna bulungi bujjanjabi.

Kirabika olina embaluka era nga n'ebbwa lino lyayingiramu obuwuka obulala kubanga ogambye nti ebbwa lyeyongera. Embaluka zibeera zibaluka ne ziwona ate ne ziddamu ne zibaluka.

Naye ebiseera ebisinga tezeeyongera mu sayizi n'okusima nga bw'ogamba okugyako nga waliwo embeera ezongedde.

Kiba kirungi ne weekebeza ne siriimu kubanga bw'oba n'akawuka, n'amabwa geeyongera mu sayizi oluusi ne gatana.

N'ekirala kubanga amabwa gano gali ku busajja ate ng'ekifo kino kizibu okulabirira, kiba kirungi n'obeera muyonjo kubanga eno y'engeri yokka ey'okukuumamu ebbwa lino obutagendamu buwuka bulala.

Genda mu ddwaaliro eddene togenda mu kweraguza buno obulwadde buzungu. Ate bw'ogenda mu ddwaaliro buuza omusawo akola ku ndwadde z'obukaba ajja kukuyamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Musinga

Poliisi eraze enguudo ezige...

PULOGULAMU ya poliisi gye yafulumizza okulungamya eby’entambula ku luguudo lwa Jinja Road ng’abeegwanyiza obwapulezidenti...

Abakungubazi nga bayingira mu kkanisa e Kawaala.

Bazirise nga batuusa omulam...

EBIWOOBE n’emiranga byabuutikidde ekkanisa ya Revival Church e Kawaala ng’omulambo gw’abadde agisumba, Pasita Augustine...

Kabaaya ne ofiisa wa poliis...

POLIISI ng’eri wamu n’ekitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’obwapulezidenti ekikulirwa Lt. Col. Edith...

Pulezidenti Magufuli

Bawakanyizza obuwanguzi bwa...

Mu kiseera kino ng’ensi eri ku bunkenke olwa Corona era nga n’amawanga mangi gakyali mu muggalo, Magufuli yagaana...

Israel etenderezza Museveni...

EGGWANGA lya Israel litenderezza Pulezidenti Museveni olw’okuba omusaale mu kubatabaganya ne Sudan bwe baludde...