TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri omugejjo gye gubuzaamu obwagazi mu basajja

Engeri omugejjo gye gubuzaamu obwagazi mu basajja

Added 5th November 2019

Engeri omugejjo gye gubuzaamu obwagazi mu basajja

 Size esukkiridde obunene oluusi eremesa abasajja okunyumya akaboozi

Size esukkiridde obunene oluusi eremesa abasajja okunyumya akaboozi

Omugejjo nagwo gulina engeri gye gutta obwagazi. Omusajja bw'agejja oluusi yeesanga ng'obwagazi bw'okwegatta bukendedde. Kino kibaawo kubanga omugejjo ebiseera ebisinga gujja n'endwadde endala ezikosa ensonga z'okwegatta. 10 Takyasikirizibwa kwegatta naawe.

Oluusi omusajja ayinza obutayoya kwegatta na mukazi we oluvannyuma lw'omukazi okukyuka mu ndabika. Kino kibaawo ssinga omukazi aba takyafaayo kwerabirira afaanane bulungi, abamu bagejja ekisusse oluusi ekitta apetayiti y'omusajja.

Noolwekyo bw'olaba nga munno ensonga y'endabika yo agirwako nnyo, tokitwala nti kya kusaaga, bw'oba olina ky'osobola okukola, kikole otaase omukwano gwammwe.

11 Omukwano gwammwe bwegubamu ebizibu. Ssinga mwesanga ng'omukwano n'obufumbo bwammwe bulina ebizibu ebibutawaanya, kiba kizibu omusajja okufuna essanyu, ate omusajja bw'ataba musanyufu tayinza kufuna bwagazi bwa kwegatta.

Era ssinga temutuula kwogera ku nsonga ezo, ojja kwesanga nga mututte ebbanga nga tewali bya kwegatta olwo ng'amaka gatandika okusasika.

12 Omusajja ayinza okukitwala nti omukazi amwagalako kwegatta kyokka, olwo n'agaana okwegatta naye ssinga abeera amunyiizizza, wano abeera akikola nga kibonerezo olw'okuba amanyi nti omukazi ayagala nnyo okwegatta

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeefudde agula essimu n'ag...

Bya Rosemary Nakaliri  Abasuubuzi b'oku Kaleerwe baazingizza ababbi abeefudde bakasitoma abazze okugula essimu...

Kayemba n'ensawo ye emweyagaza.

Kyama ki ekiri mu bbulifukk...

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Ab'e Nama bawonye okusula m...

Abatuuze mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze...

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Poliisi n'amagye byetondedd...

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba...

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman awaddeyo ebyambalo...

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo...