TOP

Enkasi okweweta buba bulwadde

Added 5th November 2019

Enkasi y'omusajja okukuba saluti ne yeeweta ng'omutego buba bulwadde, abakazi babutya. Obulwadde buno buyitibwa Peyronie mu Luzungu. Era nga abasajja ababulina buli nkasi yaabwe lw’ekuba saluti, mu kifo ky’okwegolola yeewetamu ng’omutego. Obulwadde buno butera okukwata abasajja abali mu myaka 40 n'okweyongerayo. Naye ekibi tebabwogera olw'okutya okuswala.

Bogoya eyeewese. Obusajja okweweta buba bulwadde.

Bogoya eyeewese. Obusajja okweweta buba bulwadde.

Enkasi y'omusajja okukuba saluti ne yeeweta ng'omutego buba bulwadde, abakazi babutya.

Obulwadde buno buyitibwa Peyronie mu Luzungu. Era nga abasajja ababulina buli nkasi yaabwe lw'ekuba saluti, mu kifo ky'okwegolola yeewetamu ng'omutego. Obulwadde buno butera okukwata abasajja abali mu myaka 40 n'okweyongerayo. Naye ekibi tebabwogera olw'okutya okuswala.

Ate n'abakyala b'abasajja bano balwawo okubulaba kubanga embeera y'akaboozi mu mawanga gaffe wano etera kuba ya mu nzikiza. Ate mu sitayiro nga zino eza k'e Mbarala, yo kizibu omukazi okugiraba amangu olw'enkola yaayo ey'okusabula emitunsi gy'ebbakuli ate ng'omusajja y'aba yeekwatiddemu 'embooko' ye. Mpozzi mu kumulongoosa nga bamaze emikolo w'ayinza okulabira ng'enkasi yeewese ng'eddobo. Ate era ng'amulongoosezza ng'enkasi tennagwa!

Wabula obulwadde buno bwe bugenda bukula, omukazi asobola okutandika okubuwulira naddala nga bali mu kaboozi kano aka sitayiro y'ekiminsane. Kubanga awulira ng'enkasi mu kifo ky'okwegolola, ate egenda makiikakiika.

Abasawo bagamba nti obulwadde buno tebukwata mukazi nti omusajja ayinza okubumusiiga.Ye ate ye omukazi nga bunaamuweta wa? Ebbakuli ebotoka bubotosi, so si kugooma!

Era abasawo bawa amagezi nti omusajja bw'alaba ng'abulina yandigenze mu ddwaaliro kubanga abakazi abamu naddala nga tannamanyiira musajja ono aba ababulina, bubatiisa okwegatta nga balowooza nti busobola okubasiba ng' eddobo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuserikale ng'ayingiza Mabaale  mu kaduukulu.

Eyateeze muliraanwa n'amute...

POLIISI y’e Mpigi ekutte omutuuze n’emuggalira lwa kukakkana ku muliraanwa we n’amutema ejjambiya ku nsingo n’ekigendererwa...

Asooka ku kkono ye mumyuka w'akulira yunivasite ya UCU, Prof. Aaron  Mushengyezi ate asooka (ku ddyo) ye Ndyanabo.

Vision Group enywezezza enk...

YUNIVASITE ya Uganda Christian University eyongedde okunyweza enkolagana yaayo ne Vision Group. Enkolagana eno...

Sipiika Jacob Oulanyah.

Omumyuka wa Sipiika wa Pala...

OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah era nga yeegwanyiza n’entebe ya Sipiika mu kisanja kya Palamenti...

Christine Luttu, Pulezidenti wa Rotary Club y'e Kololo ng'akwasa Charles Mugme (ku ddyo) engule.

Bannalotale basiimiddwa olw...

ABALOTALE ye Kololo basiimye abamu ku bammemba baabwe abakoleredde ennyo ekibiina kyabwe mu kutuusa obuweereza...

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...