TOP

Omukazi yanfera omukwano

Added 12th November 2019

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda mu Ankole gye twali tusomera obusomesa era ne tusiimagana wadde nga twali tukyasoma. Omukazi ono nnamwesiga kuba yali yeeyisa bulungi ekyampaliriza okumwemalirako anti nga n’ebintu by’omukwano abitegeera. Wabula gye nakoma okumwagala naye gye yakoma okunfera omukwano.

 Kavuma

Kavuma

OMUKAZI yanzibako ebiwandiiko byange byonna omuli n'ebyobuyigirize nandeka nga sirina we ntandikira.

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n'omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda mu Ankole gye twali tusomera obusomesa era ne tusiimagana wadde nga twali tukyasoma. 

Omukazi ono nnamwesiga kuba yali yeeyisa bulungi ekyampaliriza okumwemalirako anti nga n'ebintu by'omukwano abitegeera. 

Bwe twamaliriza emisomo gyaffe, twatandika omukwano gwaffe nga tetulina atukuba ku mukono n'atuuka n'okunyanjulira bazadde be ekintu ekyayongera okutugatta.

Lumu yankyalira awaka n'atandika okukebera buli kimu ekyali ku ssimu yange era mwe yagwiira ku bubaka obutaamusanyusa obwali bunsindikiddwa wamma n'atabuka. 

Ono mu kunyiiga ennyo, yakwata ebiwandiiko byange byonna omwali paasipooti n'ebbaluwa z'okusoma n'agenda nabyo era yandeka sirina na wentandikira.

Oluvannyuma yatandika okunkubira essimu nga anneewaanirako nga bwe yankomya.

Nagenda mu behhanda ze basobole okunnyamba boogereko naye wabula nasanga yavaayo era nga bagamba nti tebamanyi gy'ali.

 N'okutuusa kati siddangamu kumulabako. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.