TOP

Abasajja abawanvu balimu ekyama

Added 13th November 2019

Abakazi basinga kwegomba kuganza abasajja ababasingako obuwanvu. Era bwe wabaawo abasajja babiri abamukwana, agenda mangu n’ebyomuwanvu newankubadde ng’oluusi ono omumpi y'aba asinga okumanya ebigambo ebisinda laavu. Okunoonyereza kuno okwamaze emyaka 10, kwazudde ng’abakazi balowooza nti abasajja abawanvu bawa abakazi laavu ennungi okusinga ku bampi naddala olw'okuba babavumbagira ne bababugaanya akabugumu akaleeta laavu mu kiseera ng’okunyumya akaboozi kutuuse.

Abakazi basinga kwegomba abasajja ababasinga obuwanvu

Abakazi basinga kwegomba kuganza abasajja ababasingako obuwanvu. Era bwe wabaawo abasajja babiri abamukwana, agenda mangu n'ebyomuwanvu newankubadde ng'oluusi ono omumpi y'aba asinga okumanya ebigambo ebisinda laavu.

Okunoonyereza kuno okwamaze emyaka 10, kwazudde ng'abakazi balowooza nti abasajja abawanvu bawa abakazi laavu ennungi okusinga ku bampi naddala olw'okuba babavumbagira ne bababugaanya akabugumu akaleeta laavu mu kiseera ng'okunyumya akaboozi kutuuse.

So ng'ate omusajja omumpi, ne bw'agezaako okukola kino, tabugaanya mukazi kabugumu kali k'ayagala olw'okuba  aba tamutuuka bulungi kubugaana mubiri gwe gwonna kugumalayo.

Nti era olw'okuba kino, abasajja abampi okusinga ku bakyala baabwe kye batera okwagala ennyo akaboozi buli kaseera (emirindi nga 3 olunaku) okwagala okuggyawo kiri nti balina we batatuuka.

Kino emibiri gikikola mu butali bugenderevu naye nga ge mazima agali mu baagalana.

Okunoonyereza kuno okwafulumidde ku mutimbagano gwa Women often say they prefer taller men -- but the reality is more complicated era kwazudde ng'abakazi naddala abanoonya okuzaala bettanira nnyo abasajja ababasinga obuwanvu nti kubanga endowooza gye balina eri nti abasajja bano banguyirwa nnyo okufunyisa abakazi embuto. Engeri gye bababugaana bonna, endowooza eri nti n'enkwaso ezibavaamu zibugaana mangu amagi ne kyetinda.

Nti ate bwe kituuka mu kutambulako nabo, mikwano gy'abakazi bano balaba mangu abasajja bano. Era bwe bamala okubabanjulira naddala omulundi ogusooka, be babanjulidde baddako kya kubuuza basajja bano emirimu bwe gitambula. Kubanga obuwanvu buwanuuzibwa na buwanguzi wadde ku mirimu.

So ng'ate abasajja abampi bwe baba babanjulira mikwano gyabwe omulundi ogusoose okubasisinkana, baba balina okugattako n'ebigambo nga, '...tomulabira awo musuubuuzi wa maanyi..." basobole okutegeka bannaabwe obutabayisaamu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...