TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omulwadde wa siriimu asobola okuzaala?

Omulwadde wa siriimu asobola okuzaala?

Added 16th November 2019

NDI mukyala ayagala waakiri okuzaalayo omwana omu kubanga nnina siriimu. Naye ssenga, kandida annuma naye neebuuza nti kandida taaleete obuzibu mu kuzaala?

Kandida tagaana mukyala kuzaala oba taleeta bugumba mu bakyala. Kandida si bulwadde bwa kikaba ng'abasinga bwe balowooza kuba omufuna ssinga wabaawo enkyukakyuka mu mubiri.

Kati balwadde ba siriimu bafuna kandida kubanga ekiziyiza ku ndwadde balina kitono kati olwo akawuka akali mu kika kya ‘fungus' nga kasangibwa mu bukyala keeyongera okukula ne kabeera kangi olwo omukyala n'afuna kandida.

Kandida ono asigala mu bukyala tayambuka mu nnabaana. N'ekirala mpozzi ekisobola okugaana okuzaala ke kawuka ka siriimu kennyini. Oluusi kalina bwe kataataaganya embeera z'okuzaala mu nnabaana.

Naye ng'omukyala yenna alina akawuka asobola okuzaala. Ekirala olina okulaba ng'omwana azaalibwa nga talina kawuka nga okozesa PMCTC. Mu malwaliro gonna enkola eno bagimanyi era bagikozesa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...