TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja omukodo abuza omuliro mu laavu

Omusajja omukodo abuza omuliro mu laavu

Added 16th November 2019

TEWALI kintamizza basajja nga bukodo. Balinga abatamanyi nti omukyala yenna aweebwa kubanga kibi nnyo okukama ente gy’otowa biwata. Ggwe weebuuze amata ganaava wa?

Nze Sophie Nakibirango 25, mbeera Najjanankumbi. Nnatuuka nga nfuna omwami eyali omulungi mu ndabika nga kizibu okukwana omukazi n'amugaana. Kale bwe yansuula akagambo nti nkwagala, nasooka ne nsirika naye naddamu nti nzikirizza mu mutima.

Omanyi bagamba nti omulungi tabulako kamogo nga njagala nsooke mmanye akamogo ono kaalina.

Wabula namugamba nti okumuwa omutima gwange, kansooke mwetegereze manye obuzibu bw'alina hhende okumuwa omukwano gwange nga mutegeera.

Kino kyantwalira emyaka ebiri nga mwetegereza wabula mu bbanga eryo lyonna nga talina kampa ke nnyinza okugamba nti ke kano.

Ono gye yakoma obulungi gye yakoma obukodo. Wabula nnakoma kw'egyo seeyongerayo mu bufumbo nga bwe yali ansaba.

Bwe yayagalanga okundaba ng'ankubira ne hhenda okumusisinkana ne tulya n'okunywa olwaggwa ng'ansiibula n'akwata erirye nange ne nkwata eryandeese.

Okumanya omusajja ono yali mukodo, nga tayinza na kumpa tulansipooti gwe mba nnakozesezza oba anzizaayo.

Lumu namugezesa ne mugamba waliwo olugoye lwe njagala okugula lwa 50,000/- nga njagala annyongereze ku ze nnina ndugule.

Bwe nayogera ku ky'okumpa ssente, ye yali entandikwa y'okwawukana kwaffe anti yanziramu kimu nti ajja kulungulira era teyaddamu kukwata ssimu zange.

Nange era kye nnakola kwali kusangulamu nnamba ya ssimu ye ne mmuta era ne nkimanya ni abasajja abakodo tebaagalika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...