TOP

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga

Added 19th November 2019

Nneegatta oluvannyuma ne ngenda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto naye kati mmaze emyezi ebiri nga sigenda mu nsonga ate nkyasoma.

NDI muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ngenda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto naye kati mmaze emyezi ebiri nga sigenda mu nsonga ate nkyasoma. Ntya okwekebeza okuzuula oba ndi lubuto.
 
N'ekirala ssenga bwe nneegatta nfuna obulumi bungi ddala.
 
Mwana wange okusookera ddala olina okugenda mu ddwaaliro bakukebere okumanya oba oli lubuto.
 
Simanyi ddagala ki lye baakuwa okutangira olubuto luno era kizibu okumanya oba wafuna olubuto oba nedda. N'ekirala okweraliikirira nakyo kireeta embeera eno
n'otagenda mu nsonga naye nga toli lubuto.
 
Naye baana bange simanyi lwaki mwegatta ate nga mutya embuto. Ate okyasoma lwaki togumiikiriza n'omala okusoma. Oba ng'otya olubuto teweegatta oba si
kyekyo olina okukozesa enkola ya kizaalaggumba weewale okufuna olubuto era oyinza n'okukozesa kondomu.
 
Ate bw'oba olubuto oba oyagala oba toyagala lulina okukula era oba olina omanyika
nti olina olubuto era bw'osirika era tekikuyamba.
 
Ate ennaku zino ekirungi osobola okuzaala n'oddayo n'osoma. Sigaanyi kikola bubi abazadde ssinga oba osoma n'ofuna olubuto naye eyo ebeera ensobi
tolina kyakukola.
 
Ekibuuzo ekyokubiri okufuna obulumi nga weegatta kirabika otya nnyo okufuna olubuto kale obukyala tebusobola kweta olw'okutya era tosobola na kufuna bwagazi.
 
Mu mbera eyo olina kufuna bulumi. N'ekirala e Naguru Teenage Centre bagenda kukebera ku bwereere ate bagenda n'okuyamba okukubudaabuda ssinga bakusanga ng'oli lubuto. Genda e Bugolobi we wali Naguru Teenage Centre.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...