TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Mukazi wange alabika yayenda n'azaala n'omwana

Mukazi wange alabika yayenda n'azaala n'omwana

Added 19th November 2019

Nnina abakyala babiri, mukyala muto ali mu kyalo naye kati omukyala oyo alabika ayenda era yazaala omwana mulenzi.

Nnina abakyala babiri, mukyala muto ali mu kyalo naye kati omukyala oyo alabika ayenda era yazaala omwana mulenzi.
 
Mbadde mpeereza obuyambi era ng'oluvannyuma lw'omwezi ngendayo. Kati ssenga nnoonya omukyala omulala gwe nsobola okuzza mu kifo ekyo kubanga nina ebintu bye kolerayo. Nkoze ntya ssenga?
 
Mwana wange okusookera ddala ogambye omukyala ono mwenzi, naye okakasa nti mwenzi oba lugambo? Sitegedde omwana gw'ogamba nti mulenzi si wuwo.
 
Oba ddala olowooza nti mwenzi sooka omukebeze omanye ekituufu.
 
N'ekirala abasajja bangi bateeka abakyala mu byalo naye nga tebabafaako. Abakyala abasinga eb'ennaku zino tebagumira mbeera eyo. Kale bw'oba tomufaako wesanga
ng'afunye abasajja abalala. Naye ng'omukyala yenna olina okubeera n'obuvunaanyizibwa ku ye naddala bw'osalawo nti mukyalawo.
 
Muntegeere bulungi sigamba nti ssinga omusajja tabeera na buvunaanyizibwa ku mukyala wo alina okwenda wabula abamu kibaleteera okukemebwa n'ayenda. Kati mwana wange nga tonnaba kulowooza kufuna mukyala mulala, ndowooza sooka weetegereze oba ddala omwana ono si wuwo.
 
N'ekirala singa ofuna omukyala omulala kiki ky'ogenda okukyusaamu okulaba
ng'omukyala gwoteese mu kyalo omufaako kubanga era ogenda kudda mu mbeera eyo.
 
Omukyala okubeera mu kyalo n'oweereza obuyambi tekimala. Okugendayo
nga wayise omwezi mulamba era nakyo tekimala.
 
Abakyala b'ennaku zino si be bakyala abedda. Olina okulaba ng'omukyala omulabirira ng' oyo gw'obeera naye. Kati sooka weebuuze ddala osobola okulabirira omukyala ng'ali mu kyalo.
 
Baana bange mulekere awo abakyala okubafuula abakozi. Omukyala asigala mukyala. Olina obuvunaayizibwa okumulabirira. Nkubira ku ssimu twogere ku nsonga eno.
0772458823.
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...