TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ssenga nsobola okuloga omulenzi n'anjagala?

Ssenga nsobola okuloga omulenzi n'anjagala?

Added 19th November 2019

Mpulira bagamba osobola okuloga omusajja n’akwagala. Ggwe olina ku ddagala ssenga.

Nnina omulenzi gwe njagala, naye omulenzi oyo alabika tanjagala naye nze mwagala nnyo. Kati ssenga nkoze ntya? Mpulira bagamba osobola okuloga omusajja n'akwagala. Ggwe olina ku ddagala ssenga.
 
Sirina ddagala. Nze ndowooza nti omuntu yenna okwagala y'alina okusalawo. N'ekirala mwana wange omuntu singa asalawo okukukyawa era yeesalirawo yekka.
 
Abantu bangi balowooza nti omuntu tasobola kukukyawa era bw'akukyawa aba akoze nsobi. Kati ono oba yakukyawa mwesonyiwe.
 
Ate leka kumala budde na ssente mbu ologa.
 
N'ekirala baana bange, okuloga kikolwa kibi nnyo.
 
N'ekirala tosobola kukyusa mutima gwe akwagale nga yakukyawa. Kale tomala biseera, sigaanyi okyamwagala naye takwagala. Kati okumala obudde bwo ng'oyagala akwagale
si kirungi naakamu.
 
Ensi bwetyo bw'etambula.
 
Nekirala bantu bangi tebakimanyi nti ebirungi biri mu maaso. Oyinza okufi ira kw'ono
ate nosubwa omulala. Ate manya nti okusobola okufuna omulala ono olina muta mu
mutima osobole okulaba abalala. Kimanye nti Omukwano tebagugula era tebaguloga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...