TOP

Mukwano gwange yankwata mu liiso

Added 21st November 2019

Nafuna omuwala gwe nnayagala okuzaama era nga mmulinamu n’essuubi ly’okumufuula mukyala wange naye byonna byafa ttogge.

NZE Steven Nsamba, nnina emyaka 19 nga mbeera Makindye mu Kampala.

Nafuna omuwala gwe nnayagala okuzaama era nga mmulinamu n'essuubi ly'okumufuula mukyala wange naye byonna byafa ttogge.

Lwe nnasooka okulaba omuwala ono, namusiimirawo ate naye kirabika bwe yali era waayita mbale ne tukwatagana.

Oluvannyuma yatandika okujja gye nnali mbeera mu kazigo. Akazigo kano twali tukapangisa ne mukwano gwange era nga tubeera ffenna.

Ekyasinga okunnuma ye mukwano gwange ono gwe nnali mbeera naye ate okutandika okumusonseka ebigambo ebyamutengula okukkakkana nga batandise okwagalana.

Ekiseera we twabeerera ne mukwano gwange ono, yasala amagezi okulaba ng'afuna ennamba y'omuwala ono okutuusa bwe yagifuna ne batandika okwogeraganya nga nze simanyi.

Lumu nga ndi waka ne mukwano gwange omuwala n'ajja nze nga ndowooza nti azze kulaba nze wabula kyambuukko nga yali azze kulaba mukwano gwange.

Oluvannyuma nga mmaze okukizuula nti omuwala yali azze kulaba mukwano gwange, nze nnasalawo okutambulamu ne nvaawo awaka era nnakomawo nga obudde buzibidde ddala wabula bwennagezaako okunenya ku mukwano gwange ono nga talina kirambulukufu ky'anyinyonnyola era nange ne mmwesonyiwa nga mmaze okutegeera nti andiddemu olukwe.

Enkeera era omuwala ono yakomawo ne mbasanga mu nnyumba era okuva olwo ne nkakasiza ddala nti emikwano egimu giba mizibu.

Natandika mpola okumwesalako nga n'essimu sikyamukubira awo n'amanya nti mukyaaye.

Nga wayise ebbanga, yatandika okunkubira essimu ng'anneetondera wabula ne hhaana okumuddira ne ntandika kunywerera ku mirimu gyange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeefudde agula essimu n'ag...

Bya Rosemary Nakaliri  Abasuubuzi b'oku Kaleerwe baazingizza ababbi abeefudde bakasitoma abazze okugula essimu...

Kayemba n'ensawo ye emweyagaza.

Kyama ki ekiri mu bbulifukk...

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Ab'e Nama bawonye okusula m...

Abatuuze mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze...

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Poliisi n'amagye byetondedd...

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba...

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman awaddeyo ebyambalo...

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo...