TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebintu 15 by'okola n'oganja ewa balo

Ebintu 15 by'okola n'oganja ewa balo

Added 21st November 2019

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza obufumbo.

 Bano baabadde ku Theatre Labonita gye buvuddeko.

Bano baabadde ku Theatre Labonita gye buvuddeko.

BULI mukazi ali mu bufumbo oba mu mukwano ky'asinga okwagala kwe kusigala nga bba oba omwagalwa we amwagalira ddala era amulowoozaako buli kiseera. 

Y'ensonga lwaki abatunda eddagala ly'okuganja buli olukya beeyongera era ng'abakazi be balijjumbira. Wabula ekizibu nti ate oluusi eddagala lino balikozesa naye ate ne balemwa okuganja kubanga oluusi abasajja be bye baagala ate abakazi oluusi si bye bakola. 

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n'abafumbo agamba nti omukazi okuganja eri munne oluusi tekiba kyangu, wabula ssinga afaayo okukola ebyo ebimusuubirwamu, weesanga nga teyeetaaga kukozesa ddagala lyonna.

 Mukisa agamba nti omukazi ayagala okuganja bino tolina kubibuusa maaso.

 

 ano baabadde ku heatre abonita gye buvuddeko Bano baabadde ku Theatre Labonita gye buvuddeko.

 

 

1. Mukakase nti omwagala era nti wanjawulo nnyo mu bulamu bwo. Mulage nti wakabi mu nsonga zonna naddala mu ngeri gy'akulabiriramu, ez'ekisenge n'endala.

 Mukakase nti buli lw'omulowoozaako omutima gukutyemuka nga bwe gwali nga mwakalabagana. Manya nti buli lw'omuwaana ajja kuwuliriza era nkukakasa ajja kwagala ogende mu maaso n'okumuwaana.

2. Teweemalaayo wenna. Wadde kirungi munno okukutegeera, naye ate oluusi ensonga eno eyinza okukudibya. Kirungi oyiiyeeyo obukodyo obumulaga nti olinayo ebipya by'atamanyi, buli kiseera omukuumire ku bunkenke nga yeebuuza oba olinayo ekipya ky'oyiiya ky'atalowooza.

 

3. Fuba omukwano oba obufumbo bwammwe okubukwasa Katonda. Buli lw'okulembeza Katonda mu bulamu bwo, munno ajja kukiraba kubanga ojja kubeera mugumiikiriza, mwetoowaze, okola ebirungi, musanyufu, mwesigwa ne kalonda omulala ajja olw'okwesiga Katonda. Buli musajja ayagala okubeera n'omukazi amuwa eddembe era gwe yeesiga, kijja kuba kizibu obutamwagalira ddala.

 4. Mwambalire engoye ezimusikiriza. Abakazi batera okukola ensobi y'okwenyiriza nga bava awaka bagenda ku mirimu oba okukyala, so nga bwe babeera awaka basiiba beesibye leesu. Weemanyiize okwambala mu ngeri esikiriza omusajja wo ng'oli awaka, ajja kuba anyumirwa okukutunulako.

 5. Kirungi okwekkiririzaamu. Manya ebyamusikiriza okukuganza abimanyi, noolwekyo ne bw'oba ogezze, okozze, ofunye mugaba, oba ng'okyuse mu ngeri yonna, munno era akwagala era si kirungi kwekomomma ng'oli naye. Buli lw'omulaga nti omukkiririzaamu, ajja kwongera okukwagala.

 6. Muweereze obubaka obumusaba omukwano. Tubeera n'ebintu bingi ebitutwalira ebirowoozo omuli okunoonya ssente, okulabirira abaana n'ebirala.

Ojja kwesanga ng'okulowooza ku nsonga z'omukwano si kyangu. Noolwekyo bw'oba osobola muweerezeeyo mesegi za laavu, ojja kulaba nga zimuteeka mu muudu.

Kirungi olowooze ku bye wakolanga nga mwakalabagana ne bimusanyusa, oddemu obimukolere.

 

 

7 Fuba okulaba nga munno omwewa yenna kikumi ku kinnaako. Emirundi emingi obudde n'ebirowoozo byaffe tubissa nnyo ku mirimu, abaana n'amaka, olwo obusigadde ne tulyoka tulowooza ku baagalwa baffe. Oluusi tufaayo okulongoosa eby'omu maka gaffe naye ne tutafaayo kwerongoosa oluusi ekitta muudu ya munne.

 8 Muzzeemu amaanyi mu nsonga zonna z'aba akolako, tomulaga bukambwe, buyinza okumutiisa n'okudda awaka. Omuntu azzaamu amaanyi anyuma okuba naye, era bw'oba omuzzaamu amaanyi ojja kwesanga nga naye ayagala okubeera naawe.

 9 Weemanyiize okumusaba omukwano. Ne bw'eba haaga, oba kkiisi, bw'omulaga nti obyagala okuva gyali, kijja kwongera okumulaga nti omwagalira ddala era naye ajja kwongera okukwagala.

 10 Mwegatteko okole by'ayagala oba ebimunyumira. Okugeza bw'aba muntu wa kukola dduyiro, ne bw'oba toyagala, waakiri weewalirize mukole mwembi. Bwe guba mupiira ng'anyumirwa okugulaba, naawe tandika okugulaba. Ebbanga lye munaamala mwembi nga mukola ekintu ekyo ky'ayagala, ojja kwesanga ng'oyongedde okusembera ku mutima gwe.

11. Mufumbire ebimuwoomera. Bagamba nti omukazi okuwangula omutima gw'omusajja ateekwa kuyita mu lubuto lwe. Noolwekyo ssinga omufumbira emmere emuwoomera, ojja kwesanga nga buli kiseera akulowoozaako era kijja kuba kizibu obutawamba mutima gwe.

 12 Faayo ku buntu obutonotono bw'akola. Okugeza, bw'asalako enviiri, kimugambe amanye nti ofaayo ku ndabika ye. Wabula ate tokimugamba nga weemulugunya nti azisaze bubi. Bw'omulaga nti ofaayo ku ndabika ye ajja kwongera okukwagala.

 

 

13 Muwe ebbeetu abeere nga y'akulembera amaka n'obulamu bwo. Togezaako kumuwa mateeka kubanga teri musajja ayagala kumufuga. Muleke abeere mu mitambo mu nsonga z'amaka era akimanye nti y'avuga ekintu, kijja kumusanyusa.

 14 Musseemu ekitiibwa wamu n'endowooza ze. Weewale buli kiseera okumulaga nti endowooza ze si ntuufu, oba okumukyusa akole ebyo ggwe by'oyagala. Abasajja batono abasanyukira embeera eno kubanga abasinga bamanyi nti be babeera abatuufu mu mbeera zonna.

 15 Weewale okukangula eddoboozi ng'oli naye. Ne bw'aba alina by'akoze ne bitatambula bulungi, si kirungi ate kumuboggolera. Kino tewali musajja ayinza kukigumiikiriza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya Poliisi ebadde e...

Bino bibaddewo ku ssaawa ssatu ez'okumakya ga leero ku Lwokutaano e Kabowa we bayita ku katale ka Kidomoole ku...

Buli musajja gwe nfuna ande...

NZE Joan Nankya mbeera Kyebando mu zzooni ya Kanyanya. Twasisinkana ne baze my 2017 e Bwaise mu mbaawo nga ntambuza...

Omuwala gwe njagala ang'amb...

NNINA emyaka 23 ate omuwala gwe njagala alina emyaka 19. Omuwala ono kati angamba nti simalaako kubanga tetumalira...

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...