TOP

Lwaki kati nnumizibwa ?

Added 25th November 2019

NFUNA obulumi nga hhenda mu nsonga naye ng’embeera eno teyaliiwo. Ate n’omusaayi gubeera mungi bulala. Kati ssenga nkoze ntya ku nsonga eno?.

ABAKYALA n'abawala bangi bafuna obulumi nga bali mu mwezi oba mu nsonga.

Kino kya bulijjo oba kya butonde kubanga nnabaana aba yeetugga ng'afulumya omusaayi era bwe bulumi obwo.

Kati mwana wange oba wali tofuna bulumi obwo kitegeeza waliwo ekitateredde mu nnabaana. Olina kugenda olabe omusawo ku nsonga eno.

Abakyala bangi babeera n'embeera eno naye nga balina obulwadde ng'ebizimba oba enziku.

Naye abo abakyala oba abawala abatandika n'okulumizibwa kuno nga bavubuuka ekyo kibeera nga kye kikula kye era abasinga babeera ne nnabaana nga mufunda ddala kale ng'okufulumya omusaayi alina kwetugga. Naye ate bw'otandika okufuna embeera eno nga teyaliiwo wabeerawo obuzibu.

Kati ate n'omusaayi bw'olaba nga gweyongera ate nga tegwali mungi era olina okulaba omusawo.

Genda olabe omukugu akola ku nsonga z'abakyala bwe bayita gynacologist mu ddwaaliro eddene ajja kukuyamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.