TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eyajja nga omupangisa yannyonoonera obulamu

Eyajja nga omupangisa yannyonoonera obulamu

Added 25th November 2019

OBULAMU bwange bwali bulungi okutuusa lwe nafuna olubuto lw’omusajja gwe nnali simanyi wadde gy’ava.

Nga bwe bagamba nti omukwano guziba amaaso, nange gwanziba amaaso ne ntuuka n'okuzaala mu musajja gwe nnali simanyi wadde ebimukwatako. Nze Caroline Ajambo, mbeera Namuwongo.

Omwami ono yali mupangisa ku nnyumba kwe nnali nsula era we yatandikira okunsonseka obugambo bw'omukwano obwantengula omutima okukkakkana nga twagalanye.

Nga wayise ebbanga, omwami ono yatandika okunkanda omwana ng'ataddewo n'obukkwakkulizo nti ssinga simuzaalira, kiba kiraga nti simwagala.

Nasooka ne ntya kuba nnali sinaayagala kuzaala, naye olw'okuba nnali saagala kumulumya, nakkiriza era waayita ebbanga ttono ne nfuna olubuto.

Kino kyansanyusa nnyo kubanga nnali mmanyi nti omwami wange ky'ayagala ekyatuuka n'okundowoozesa nti osanga twali tugenda kutandika kubeera ffembi.

Bwe nnamugamba amawulire gano, yatandika mpola okukyuka nga ne bwemba nnina kye mmugamba nga tammuka.

Natuusa ekiseera nga sikyamulaba nga n'essimu ye tekyabeerako. Nalowooza nti osanga yali afunye obuzibu kubanga ennyumba ye yaliko kkufulu.

Nagenda ewa landiroodi ne mugamba nti omwami w'omwo taba nga yafuna obuzibu nga sikyamulaba!

Landiroodi olwamugamba bino kwe kumenya kkufulu, tugenda okutuuka mu nju nga nkalu naye nga yalekamu entimbe. Nasooka ne ntuula wansi nga mpunze kubanga nnali ndaba ng'ensi ekomye ate nga sirina muntu we yenna ggwe mmanyi.

Obuzibu bwe nafuna omwana gwe nazaala alina ekizibu ku bwongo era abasawo bagamba nti alina kubeera ku ddagala kyokka talina kyasobola kukola ku mwaka ogumu ate nga n'eddagala lya bbeeyi.

Omwami ono siddangamu kumulaba era simanyi na waakutandikira. Sikyakola kubanga omwana sirina gwe mulekera ate nga ne mu nnyumba bangobamu. Bannange, nsaba kumpa ku magezi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...