TOP

Ntya okuddamu okuzaala

Added 1st December 2019

NNINA abaana basatu naye nzaala bubi era buli lwe nzaala nkomayo. Abasawo bahhaana okuddamu okuzaala. Naye omwami wange ayagala tuzaale abaana mukaaga. Neeyongere okuzaala oba omwami wange mugambe? Ayinza okundekawo n’afuna omukyala omulala singa mugamba nti sigenda kuddamu kuzaala.

ABASAJJA bangi tebakitegeera nti omukyala alina okukoma okuzaala. Abasawo we batuukira okukugaana okuddamu okuzaala, embeera baba bagitegeera bulungi era baba baagala osigale ng'oli mulamu.

Oyinza okuzaala omwana naawona ate gwe n'ofa. Kati omwami wo tamanyi lwaki olina okukoma ku baana abasatu.

Wano omusawo alina okukuyamba n'amunnyonnyola wadde ng'era ayinza obutakitegeera.

Omusajja okuzaala mu mukazi omulala yeesalirawo yekka era ne bw'ozaala abaana mukaaga nga bw'ayagala wabula n'asalawo okuzaala mu mukazi omulala era akikola.

Oluusi ne bw'okola ebirungi ebyenkanawa ng'asazeewo era akola ekyo ky'alaba nga kimusanyusa wadde ggwe tekikusanyusa. Kati gwe olina okusalawo ku bulamu bwo kubanga kye kikulu.

Olina okukimanya nti bw'oba ozaala ggwe obeera mu buzibu si mwami wo. Gendera ku mateeka g'omusawo osobole okukuza abaana bo abasatu.

Oba omusajja ono akwagala, agenda kuwagira enkola ya kizaalaggumba kubanga aba tayagala kukufiirwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu