TOP

Ennaku ennumye ne neetamwa

Added 1st December 2019

OKUBONAABONA taata w’abaana kwantuusizzaako kuntamizza abasajja. Nze Frolence Nambuya 42, mbeera Kirwanire mu Matugga.

Twasisinkana ne baze mu 2003 ne mmwemalira nga ndaba nfunye omuntu bwe tunaakumagana, wabula akoze kimu kya kunkaabya.

Mu katale e Matugga nnalinamu omudaala nga ntunda buli kye nnabanga ndabye era nga ssente nzifuna, we nnafunira omusajja ono eyali makanika wa ppikippiki mu Matugga.

Yantegeeza nga bwe yali ansiimye mbeere mukyala we era n'ambuulira nga bwe yalina omukyala omulala.

Bwe namugamba nti saagala musajja alina mukazi, yahhumya nti kino tekiyinza kukendeeza mukwano gwawulira gyendi.

Mu 2007 nnazaala omwana mulenzi olwo omusajja ono natandika okunneewolako ssente ze nnali nkuhhaanyirizza ebbanga. Bwe nnamuwolanga 10,000/- nga azizza mangu naye bwe nnamuwanga ezisingawo nga tazizza.

Yali yampangisiza omuzigo, nga mukyala mukulu y'asula mu maka e Kawempe. Muggya wange teyanninaako buzibu nga n'abaana be bajja ewange.

Omusajja ono yagula poloti za mirundi esatu nga antegeeza nga bw'azingulidde ate oluvannyuma n'azinzigyako n'azitunda.

Mu 2008 nnamubuulira bwe nnalina 500,000/- ne musaba anyongereko ngule poloti.

Ssente yazimpa era twagenda naye okugisasula. Naye bwe twatuuka ku mutunzi, omusajja ono yayagala endagaano bagikole mu mannya ge so nga nze nnali njagala ebe mu mannya ga mwana waffe.

Omusajja yalemerako ng'agamba nti bwe batagiwandiika mu mannya ge tagenda kugigula.

Poloti twagigula emitwalo 90 ne tusasulako emitwala 80 ng'emitwalo 10 zaakusasulwa oluvannyuma.

Yankakasa nti endagaano yali yaakukyusibwa nga basasula ebbanja olwo edde mu mannya g'omwana.

Ekyewuunyisa, namuwa ssente kyokka endagaano n'agireka mu mannya ge n'agitwalira muggya wange ne bagitunda nga wayise emyezi mukaaga.

Omusajja ono yajjanga ku mulimu gye nnali nkolera n'akola effujjo okutuusa lwe bangoba.

Yajjanga we nnali mbeera n'akolerawo effujjo n'awangula n'olujji ne ku nnyumba ne batugoba ne nzira ewa kitange e Najjemba gye nava oluvannyuma ne hhenda ewa mukulu wange e Kkungu gye natandikira okusuubula ebijanjaalo.

Muno nafunamu ssente ne ngula poloti ne nzimbamu ennyumba. Oluvannyuma twaddihhana ne nfuna n'olubuto olulala.

Ono yagula ppikippiki n'antegeeza nga bw'agiguze okuyamba abaana bange era ne ntandika okukola nga boodabooda.

Wano omwana adda ku mukulu we yalwalira era nnali mu ddwaaliro ppikippiki n'agitunda era n'awangula n'oluggi mu nnyumba.

Nnamuwawaabira ku poliisi ku fayiro nnamba SD 18/27/06/11 nga muvunaana obutalabirira baana n'okwonoona ebyange ne bamuyita naye teyagendayo.

Ensonga nazongerayo mu kkooti e Matugga gye baamukozeseza endagaano y'okulabirira abaana ekintu kyataatuukiriza.

Kkooti yampa ebbaluwa emukwata ngitwale ku poliisi e Matugga kyokka bwe nnatuukayo bankwata nze ne banzigulako ogw'okwasa endabirwamu y'emmotoka kye simanyi. Ku poliisi namalayo ennaku mukaaga ne ntwalibwa mu kkooti.

Taata ye yanneeyimirira. Omusango oluvannnyuma kkooti yagugoba.

Omwana omukulu yali agaanyi okumuweerera okutuusa Nakacwa owa Taasa Amaka ku Bukedde TV lwe yankolera ku ntegeka ezimusomesa. Amuddirira yafa ne mu ddwaaliro baze teyalinnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...