TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Nkole ntya okuviira omusajja omutamiivu?

Nkole ntya okuviira omusajja omutamiivu?

Added 2nd December 2019

TULI mu muzigo n’abaana baffe bataano. Naye omwami mpulira antamye, buli lwanywa omwenge n’alwana. Abaana nze mbalabirira mu buli kimu ne fiizi nze nzisasula. Baze akomawo atamidde n’atukuba n’abaana kale ne tuswala buli kiseera. Njagala kumuleka mpangise ennyumba endala kubanga nkooye ate baganda be bahhamba nti nnina okuguma. Ssenga hhumire ku ki?

ABAKUGAMBA nti olina okuguma baagala obakuumire omuntu waabwe kubanga tebasobola kubeera naye nga mutamiivu.

Okusookera ddala talina buvunaanyizibwa ku maka ge kati ayagala ggwe otwale obuvunaanyizibwa ate nga bw'owoza n'emisango egy'okulwana.

Oba ddala gwe asasula ennyumba n'okulabirira abaana, nze ndaba ng'atali mufumbo. kyokka n'agattako okukukuba.

Kati balamu bo oba baganda be, bakwagala osigale ng'omulabirira. Ensonga eno gitwale mu bantu be nga weemulugunya nti tokyasobola kubeera na musajja ono era obabuulire nga bw'omukooye kubanga bw'oba okyali naye ate nga takuyamba kitegeeza nti okyayagala okubeera naye.

Olina okwesalirawo bw'oba owulira nti omukyaye n'omuleka mu nnyumba n'ofuna endala. Babuulire nti ogenda kumuviira tokyamusobola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo