TOP

Engeri akyayiddwa gye yezza obuggya

Added 4th December 2019

Engeri akyayiddwa gye yezza obuggya

 Omusajja ng’ali mu birowoozo.

Omusajja ng’ali mu birowoozo.

NULU Nassanga mukugu mu
kubudaabuda abafumbo agamba
nti omuntu okulekebwawo
kya bulijjo kuba tewali mbeera
Katonda gye yatonda nga
ya lubeerera wabula ekikulu
y'engeri gy'osobola okuyita mu
mbeera eyo.
Noolwekyo omusajja akyayiddwa
ebimu ku bintu by'alina
okukola okuyita mu mbeera
y'obukyawe nga talumiziddwa
nnyo bye bino wammanga.
Weewale okwesalira
omusango. Abantu abangi
bw'akyayibwa atandika okwesalira
omusango nga bw'ayinza
okuba nga ye yavuddeko
obuzibu, n'atandika okweraba
ng'atalina ky'ali era omukyala
w'amulekeddewo ebibye bibi.
Okwetereeza nsonga nkulu.
Omukazi bw'akukyawa
ekikulu si kwekubagiza wabula
okumanya buzibu bwo we
bwavudde ate kireme kukukosa
ne mu mukwano gw'oddamu
okufuna.
Manya ky'oyagala.
Omukyala bw'aba nga akuleseewo
kkiriza osooke omanye
ky'oyagala ng'omuntu weebuuze
by'obadde oyagala mu
mukyala eyagenze bw'obimanya
awo weebuuze oba tewali
muntu mulala ayinza kuba na
by'oyagala?
Bw'onoomaliriza okwefumiitiriza
ku bintu ebyo omutima
gujja kuba gumaze okukitegeera
nti ojja kusobola okufuna
omulala asinga ne gw'obadde
naye.
Kyeteekemu nti toli
bw'omu. Buli omuntu lw'olifuna
ekirungi katugambe okubye
embaga bw'oba ojaganya
kimanye nti si ggwe asoose
abantu embaga baazikuba
dda. Kino kijja kukuyamba ne
bw'onooba ofunye ekizibu ojja
kukitegeera nti si ggwe asoose
okukyayibwa abantu baabakyawa
dda ate ne babeerawo.
Weewale okweraba ng'atatuukiridde.
Ebiseera ebisinga
kibi nnyo omuntu okulemwa
okwekkiririzaamu kuba tewali
ajja kukukkiririzaamu. Bw'olaba
ng'omukazi akuleseewo, leka
kwetwala ng'aliko ekikubulako
wabula manya nti buli kimu
okirina okuggyako oyo akusuddewo
y'atasobodde kubiraba.
Kitwale nti akusuddewo
yakoze loosi. Buli lw'olowooza
ku ky'okuba nti omukazi
okukukyawa obeera okoze
loosi kijja kukukosa nnyo naye
okukyewala bw'olaba omukyala
agenze kitwale nti y'akoze loosi
olw'ebyo by'agenda okufi irwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...