TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Anoonya omubeezi komya okwambala ebikuweebula

Anoonya omubeezi komya okwambala ebikuweebula

Added 4th December 2019

MWANA wange ennyambala yo si nnungi na kamu. Wali muwala n‛ova mu buwala n‛ovubuka era n‛ofuuka omukyala era omwami waffe n‛asalawo akuwase n‛ofuuka omukyala omufumbo.

MWANA wange ennyambala yo si nnungi
na kamu. Wali muwala n‛ova mu buwala
n‛ovubuka era n‛ofuuka omukyala era omwami
waffe n‛asalawo akuwase n‛ofuuka
omukyala omufumbo.
Ennyambala mwana wange erina bingi
byetegeza. Era bw‛olabanga omuntu yenna
ng‛ayambadde bubi okusinziira ku maaso
go weebuuza ebintu bingi.
Omukyala yenna omufumbo alina ngeri
gy‛alina okwambala. Tulina engoye nnyingi
ng‛abakyala ze tusobola okwambala naye
buli lugoye lulina omukolo.
Bw‛oba ogenda mu ofi isi ate tolina
kwambala nga bw‛obeera awaka. Ate
ng‛ogenda ku mikolo oba ku mbaga oba
kwanjula era olina okwambala ng‛ omukolo
ogwo bwe guli.
Kati nkwewuunya oluusi oyambala
ng‛agenda okuwuga ate ng‛ogenda ku
mbaga. Ate ku mbaga kuno oluusi banyazaala
babeerako.
Twaswala nnyo jjuuzi ku mukolo gwa
mugandawo ogw‛embaga. Wayambala
olugoye naye nga kumpi ekisambi kyonna
tukiraba. Ate jjukira wali olina okwetala
kale ne tufa ennaku. Akawale ke wateeka
munda nga tukalaba bulungi kaali keeru
era nga ne we kayita tulabawo. Ate akagoye
kaali kakukwata nnyo era sirowooza
nti akabinako kaalina emirembe.
Kitaawo ng‛agamba nti nze sikugambako
naye ng‛okimanyi nti nakugambako
ennyambala yo bwe tatusanysusa. Ekibi
ne ssezaala yali ku mbaga mwana wamge
n‛enfa ensonyi.
Mwana wange oli mufumbo, abakyala
oba abawala abatalina basajja be balina
okwambala nga gwe. Sigaanyi mulembe
naye omulembe ogw‛abafumbo tegukyuka
olina kwambala nga mukyala mufumbo.
Olina n‛abaana, wafuuka maama laba
bw‛olaga abaana bo ennyambala embi.
Olwo obagambako otya ku nnyambala!
Twaswala nnyo, buli muntu yali akutunuulira
naye simanyi wali olowooza nti
bakwegomba nga bw‛oyambadde obulungi.
Balamu bo baηηamba nti lwaki sikugamba.
Naye oyagala njogere lulimi ki
lw‛otegeera.
Ffenna tuswala ne taata wo era ne
maama wo. Naye asinga okuswala ye gwe.
Oli mufumbo era obwereere bwo alina
okubulaba ye mwamiwo so si buli muntu.
Kyusa ennyambala, enkunamyo si za
bakyala bafumbo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...