TOP

Nnoonya mwana wa bulenzi

Added 6th December 2019

NNINA abaana abawala basatu, era ndi mufumbo. Nnina omusajja anjagala agamba nti asobola okukyusa oluzaalo ne nzaala omwana omulenzi.

Nti azaala baana balenzi bokka. Ssenga njagala omwana omulenzi ate ono omusajja andi bubi, mmwagale nfune omwana omulenzi omwami wange ndimunnyonnyola n'akitegeera.

WANGI mwana wange! Ani gw'ogenda okunnyonnyola n'akitegeera?

Ekirala oli mufumbo oba toli mufumbo? Omufumbo talina kwenda wadde okwagala omusajja omulala okuggyako balo.

N'ekirala omanyi nti omusajja oyo ayagala kukulemesa bufumbo. Ddala akulimba atya nti akyusa oluzaalo?.

Ekisookera ddala sigaanye alabika azaala balenzi naye okimanyi nti oluusi n'embeera y'omukyala mu nnabaana ereetera omukyala okuzaala abaana abalenzi oba abawala. Kyokola kikyamu okwagala omusajja omulala ate ng'oli mufumbo.

Ekyookubiri teri musajja asobola kugumiikiriza embeera ya bwenzi era tayinza kukitegeera.

Lwaki okola ekintu ky'olaba nga kisobola okuleeta obutemu mu maka go.

Omusajja oyo muleke, omwana omulenzi gw'oyagala era osobola okumufuna singa olaba omusawo nga mutendeke n'akubuulira bulungi bwe musobola okukikola ne muzaala omwana omulenzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugagga Ham eyakulembeddemu bannanyini bizimbe mu lukiiko ne Amelia Kyambadde

Bannanyini bizimbe balemedd...

AKAKIIKO kebassaawo okubaga ebinaagobererwa kisobozese okuggulawo akeedi z’omu Kampala kamalirizza lipooti eno...

Jackson Musisi kitunzi w'essaza lya Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kamoga obuvunaanyizibwa bw'essaza

Aba ttiimu y'essaza lya Gom...

OLUVANNYUMA lw’ Essaza lya Gomba okusaasaanya ssente empitirivu mu kugula abazannyi, abakungu baalyo bafunyemu...

Omutendesi Bamweyana ng'assa ku ndagaano omukono

Omutendesi Bamweyana olwega...

OMUTENDESI omuggya owa Wakiso Giants FC mu Star times Uganda Premier League, Douglas Bamweyana asuubizza omupiira...

Bryan White kati asizza ku ku byuma

Bryan White mulwadde muyi: ...

Bryan White mu kiseera kino asizza ku byuma amaze wiiki biri mu ddwaaliro ly'e Nakasero kyokka embeera ye ekyagaanye...

Kato Lubwama nga tebannamulongoosa

Omubaka Kato Lubwama bamulo...

OMUBAKA Kato Lubwama ( Lubaga South) amaze essaawa ssatu mu sweeta ng'abasawo bamulongoosa n'okumwekebegya omulundi...