TOP

Ebitta obufumbo mu nnaku enkulu

Added 10th December 2019

Biibino ebitta omukwano mu nnaku enkulu abafumbo oba abaagalana bye balina okwerinda

1 Obubaga. Si kibi okugenda ku bubaga naye waliwo ekisukka. Ne bw'oba oyagala otya, toyinza kulowooza nti bwonna ojja kubumalayo wabula ekikulu kyandibadde nti ogenze ku kabaga ki era ogendako nakigenderwa ki? N'enzikiriziganya wakati wo ne munno nga tonnagenda kikulu. Ssinga olaba nti munno si mumativu n'akabaga k'ogendako kyandibadde kya buvunaanyizibwa n'okeesonyiwa.

2 Ebyokwambala. Ekimu ku bintu abantu bye basinga okulowoozaako mu biseera by'ebikujjuko kwe kwambala kuba buli omu aba ayagala okulabika obulungi.

Ku bakyala abamu, ssinga bba alemwa okumugulira olugoye waakiri anoba naye ng'omukyala tonnanoba sooka weebuuze ddala omuntu asobola okugaba ky'atalina? Ye waliwo omuntu atayagala mukyala we alabike bulungi ku Ssekukkulu?

3 Ebyokulya. Bagamba nti olubuto kyoto, era buli olukya omuntu aba yeetaaga okulya. Waliwo abasoowagana ng'entabwe eva ku butagula nkoko oba nnyama ku Ssekukkulu. Naye nga tonnasalira munno musango, manya nti ebintu mu sizoni eno biba ku buseera, noolwekyo osobola okufumba kyonna ky'aba aleese ne muyita mu lunaku.

4 Emikwano. Gino gitera okuwaga naddala mu biseera bino. Wabula nga tonnagendera kw'ebyo mukwano gwo by'akugamba, sooka weekubemu ttooci olabe oba nga ddala obyetaaga.

Okugeza bwe kuba kucakala, bw'aba agenda mu bifo bya bbeeyi, si kirungi naawe kugoberera naddala ng'ensawo yo teyimiridde bulungi. Bo abakyala bwe bagenda ku bikujjuko emikwano gimanyi okubeerabiza kye bali ewaka ne zituuka essaawa z'okudda awaka, wabula ne bamuwaga nga bw'anaddayo enkeera, kyokka nga bamanyi nti mufumbo.

5 Ebirabo ebigabwa. Bino bisobola okuvaako obuzibu mu ngeri bbiri, kye wandifunye okuva eri omwagalwawo n'ebiva eri abalala. Abasajja abamu mukazi we bw'afuna ekirabo ekinene okuva ew'omuntu gwe yeekengera ekyo kiyinza okumutabula.

Ekirabo era kisobola okuleetawo obuzibu ssinga omukyala abeera asuubira ekirabo ky'olunaku okuva ew'omwagalwa we n'atakifuna oba n'afunana ekitono ku ky'abadde asuubira. Ssinga abafumbo n'abaagalana tebeefuga mu sizoni eno nga bakola ebiyamba okuzimba laavu yabawe, kyangu okuggweerawo ddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....