TOP

Mpulira saagala bya kwegatta

Added 10th December 2019

Saagala kwegatta na mwami wange, ate nga mmwagala bulungi nnyo. Nnali sirina kizibu kino naye omwaka guno nalekera awo okulwala, bakyala bannange ne baηηamba nti obwagazi bukendeera bw’olekera awo okulwala. Kati ssenga nkoze ntya ku nsonga eno. Omwami wange alowooza nnina omusajja omulala naye nga sirina.

Omukyala oba omusajja yenna bw'akula kituufu obwagazi bukendeera. Naye tekitegeeza nti obwagazi buggwaamu.

Ate era abantu eb'enjawulo oyinza okusanga omukyala oba omusajja nga mukulu naye ng'alina obwagazi nga obw'omuvubuka.

Kati bw'olekera awo okulwala mu butonde era obwagazi bukendeera. Ndowooza kino Mukama yakikola kubanga omugaso ogw'okwegatta, okuzaala guba tegukyaliiwo.

N'ekirala mwana wange oluusi abakyala abateeka endowooza mu bwongo nti nga bw'amaze ebyokulwala talaba lwaki yeegatta kubanga n'ebyokuzaala bikomye.

Bwoteeka endowooza eno mu bwongo era weesanga nga toyagala kwegatta. Era kiringa abakyala abamu bwe bateeka endowooza nti baamala okuzaala kale tebalina kwegatta.

Mu mbeera eyo n'obwagazi bubula. Olina okwebuuza oba ebirowoozo mu bwongo wabikyusa. N'ekirala okukaddiwa tekitegeeza nti tolina kwegatta.

Omuntu yenna alina eddembe okwegatta bw'aba awulira ng'akyayagala ate ng'atuuse. Kitegeeza nti baana abato tebalina kwegatta okutuusa nga bakuze.

Kati tereeza ebirowoozo. Osobola n'okulaba abasawo abatendeke abakola ku nsonga z'abakyala nabo abasobola okukuyamba ne bakuwaayo eddagala erikuyamba okuzza obwagazi obwo .

Olina okujjukira nti omusajja asigala ayagala okwegata naawe era okulekera awo okulwala omwezi tekireeta mbeera yakukyawa kwegatta.

N'ekirala oba waliwo ekizibu ekiri mu maka ekireese embeera eno. Oluusi ebizibu mu maka bireteera omusajja oba omukyala okukyawa okwegatta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutume John Bungo ne Bp. Joel Kakembo nga boogerezeganya mu lukung'aana lw'okusaba

Musabire eggwanga nga twete...

Abasumba okuva mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo babanguddwa ku ngeri gye basobola okulung'amyamu ekisibo kya...

Kabangali etomeddwa bbaasi yonna esaanyeewo mu kabanje akasse abantu abana e Mbarara.

Akabenje katuze 4 e Mbarara...

Abantu bana be bakakasiddwa okufiira mu kabenje akawungeezi kw'olwaleero ku kabuga k'e Rugando mu luguudo lwa Mbarara-Ntungamo...

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...