TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Kola bino munyumirwe eggandaalo lya Ssekukkulu n'omwagalwa wo

Kola bino munyumirwe eggandaalo lya Ssekukkulu n'omwagalwa wo

Added 18th December 2019

SSEKUKKULU n’okumalako omwaka kiba kiseera kya njawulo. Bwe kituuka mu baagalana, kiba kiseera kya kupima omukwano buli omu gw’alina eri munne,kubanga buli omu aba alina by’asuubira okuva eri munne.

 Bano baabadde Nateete nga bakwata vidiyo ya Chris Evans.

Bano baabadde Nateete nga bakwata vidiyo ya Chris Evans.

Edith Mukisa omukugu mu kubuulirira abafumbo agamba nti mu ggandaalo lino, buli muntu mu mbeera ye oba mu nnyingizaye asobola okulufuula olunyuvu singa buli omu abeera akitade mu mutima ne yeekwata obukodyo buno.

1 Sooka weetunulemu. Abaagalana buli omu kozesa ekiseera eky'ennaku ezisigaddeyo weetunulemu nga weebuuza, mbadde maama oba taata omujjuvu? Bw'oba olina we wasobya weetonde.

2 Tunula mu mpuliziganya yammwe. Akamu ku bukodyo essaawa eno abafumbo ke batateekeddwa kulekayo kwe kussaawo empuliziganya ennungi wakati wammwe. Kino kijja kubayamba ne bwe wanaabaawo ebisobye mujja kwanguyirwa okwetereeza.

3 Okutonera munno ekirabo. Kino kyolesa okwagala kw'olina eri munno. Okutona tekulina kubeera ku ludda lumu. Abakazi batera Lwakubiri December 17, 2019 Ssenga okukitwala nti be balina okutonerwa, ekitali kituufu.

4 Obuyonjo awaka. Kino kikulu nnyo, era abazadde mwembi muvunaanyizibwa wadde omukyala alina enkizo. Fuba okulaba nga buli w'ozza eriiso wakusanyusa, okuviira ddala mu kisenge kyammwe.

5 Faayo ku nnyambala y'omwami wo. Abakyala bangi batuuka ekiseera nga takyafaayo oba bba ayambadde lugoye ki. Kyokka bw'oba onookakasa balo nti ddala gwe mukyala gw'alina okubeera naye lubeerera kozesa akakodyo k'okumuyonja mu biseera bya Ssekukkulu. Ku babeera mu byalo, osobola okumumwa ekyenyi, okumusala enjala z'engalo n'ebigere ne kalonda omulala okukakasa nga muyonjo ddala.

6 Awaka walina okubaawo emirembe. Ennaku zino ziba za kusanyuka. Tositula ntalo na kujjukiza munno ebitaatambula bulungi. Amaka gammwe gafuule ekifo buli omu we yandyagadde okuwummulira.

Abantu abamu basalawo okuva awaka eggandaalo ne balimalira awalala lwa kwagala kufuna mirembe. Noolwekyo omukyala oba omwami kino kye kiseera ekituufu okulaba ng'eddembe libugaana awaka, emboozi ezinyumizibwa awaka zibeere za sannyu, okwejjukanya ebirungi bye muyiseemu mu mwaka.

7 Mugule ebyawaka ebipya. Bino byongera ebbugumu awaka, era buli omu ajja kulaba nga ddala ekiseera kye mulimu kya njawulo. Ng'oggyeeko engoye n'engatto, musobola okugula eby'omu Okukyusa ekisenge tekitegeeza kuva mu kisenge kimu odde mu kirala, oba okugula ebintu ebipya, wabula kirimu bingi;

 Osobola okukozesa obutto bwe mwezizika n'oteekako obugoye obusikiriza amaaso.

Bw'oba olina obusobozi oyinza n'okugulayo obutto obwakolebwa mu ‘shape' ez'enjawulo nga obw'omutina, sikweya, obwetooloovu n'endala. Ojja kulaba ng'ekisenge kyo kikyuse, ate nga tokozesezza ssente nnyingi.

 Essuuka. Zino nazo osobola okuzizannyisa ng'ozaala mu ngeri ey'enjawulo, ekisenge ne kirabika bulungi.

 Obugoye bw'omu kisenge. Abakyala abamu weesanga ng'obugoye abukozesezza okumala omwaka mulamba awatali kubukyusa. Bw'oba n'obusobozi kino kye kiseera okugulayo obupya, bujja kwongera ebbugumu mu mukwano gwammwe. Kyusa ekitanda okitunuzeeko awalala, ojja kwesanga ng'ate ekisenge kyammwe kikulabikidde bulungi, okusinga bwe kibadde.

 Okukyusa amataala. Abantu bangi balina amataala agaaka ennyo mu bisenge kyabwe. Ku luno muyinza okukyusa ne muteekamu ku balubu eyaka empolampola, ojja kulaba nga waliwo enjawulo mu kisenge kyammwe era n'omukwano bw egutyo.

 Oyinza n'okusiiga langi empya. Eno ejja kwongera okulabisa obulungi ekisenge kyammwe, ate ng'ojja kwesanga nga teyeetaaga ssente nnyingi. Funa ekwatagana obulungi n'entimbe eziri mu kisenge, ojja kulaba ng'eggandaalo lya Ssekukkulu libanyumidde okukamala.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...