TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omuwala gwe nnayagala mu kusooka yangattika

Omuwala gwe nnayagala mu kusooka yangattika

Added 28th December 2019

NNINA obulumi n’okutuusa essaawa ya leero olw’omuwala gwe nnali nfiirako eyammenya omutima. Buli musajja ky’asinga okwagala mu bulamu kwe kufuna omwagalwa amussaamu ekitiibwa.

Nze Sharif Kabuye 26, mbeera Najjanankumbi. Nalina mukwano gwange ow'oku lusegere bwe twali tukologana obulungi. Mukwano gwange yalina mukwano gwe omuwala ng'anyirira.

Endabika ye yantengula emmeeme ne nnoonya engeri gye nnyinza okufuuka mukwano gwe n'okumufunamu abeere omwagalwa wange.

Nasaba mukwano gwange anfunire ennamba ye era n'agifuna wamma ggwe ne mpulira ng'ebyange biteredde. Nnamukubirako ne mmunnyonnyola ensonga zange.

Ebintu byatambula bulungi ne tutandika okusisinkana mu bifo eby'enjawulo okwongera okunyumyamu n'okwemanya.

Okumanya omuwala nnamwagala, nafuba okulaba nga mmutuusaako buli ky'ansaba nga saagala ajule.

Lumu mba ndi ku kabaga, omuwala ne mmwanjulira omu ku mikwano gyange emirala kubanga nnali nnina ekifaananyi kye ku ssimu yange. Wabula, gwe namwanjulira yahhamba ng'omuwala gwe njagala bwe yalina omusajja omulala gwe yali amanyi obulungi.

Yandaga ebimu ku bifaananyi by'omuwala ono ng'ali n'omusajja omulala mu bifo eby'enjawulo ebisanyukirwamu.

Saasooka kumukkiriza nga ndowooza nti, tanjagaliza kyokka omutima gwange gwatandika okumwekengera.

Nga wayise wiiki bbiri, omuwala yansaba ssente n'antegeeza nti yali ayagala kugenda kulaba ku muganda we omulwadde era ne nzimuweereza ku ssimu.

Mba ntambula mu kkubo, ne mmulengera ng'ali n'omusajja gwe baali bandaze mu bifaananyi nga balaga nti banyumirwa.

Bwe namukubira essimu okumubuuza omulwadde gwe yagenze okulaba bw'ali n'antegeeza nti, omulwadde yali bubi.

Okuva ku olwo, omuwala saddamu kumwesembereza kubanga yali ankudde ekimala. Omutima gwange gwafa mu byomukwano ne mbyesonyiwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...

KCCA ewaddeyo ekitundu kya ...

EKITONGOLE kya KCCA kyaddaaki kiwaddeyo ekitundu ku kibangirizi kya Centenary Park eri ekitongole ekivunaanyizibwa...

Eyanzaalamu abalongo ansuddewo

NZE Sylvia Nayiga, mbeera mu zzooni I e Kawaala mu Kampala. Omusajja anneefuulidde oluvannyuma lw’okunzaalamu abalongo....

Pulaani y'okulonda mu 2021 ...

KU Lwokuna nga January 14, 2021 lwe lunaku lw’okulonderako ababaka ba Palamenti mu ggwanga lyonna. Omulamuzi Simon...