TOP

Eyali anfudde ATM namutebuka

Added 3rd January 2020

MU bulamu, kinyuma omuntu n’akolera munne ekirungi ne bwe kiba kitono kitya ate ne gw’okikoledde n’akusiima. Awo ofuna amaanyi agamuyiiyiza ekirala ate ekisingako. Nze Alex Musaazi 19, mbeera Zzana mu Kampala.

Nnafuna omuwala gwe nneegomba ne kimpaliriza okumuyimiriza ne mbeerako bye mmugamba ate naye n'akitegeera bulungi.

Omuwala ono engeri gye yali omulungi kaalaala, nnalabira ddala ng'okumusubwa mbeera nfiiriddwa.

Kino kyampa essanyu bwe natuukirira omuwala ono ne mutegeeza nga bwe nnali njagala afuuke mukwano gwange era n'akkiriza bulungi nnyo. Namusaba ennamba y'essimu n'agimpa olwo ne tutandikira awo nga buli omu akubira munne. Awo omukwano gwaffe we gwatandikira.

Okumanya nnayagala omuwala ono, nafuba okulaba nga buli ky'ansaba nkimuwa era nga tajula naye ate nga ye andaga nti bye mmuwadde tabisiima.

Kino yakikola enfunda eziwera era nange bwe nnalaba nga kafuuse kagenderere obutasiima ne ntandika okufunamu endowooza nti alabika alina bye yeenoonyeza nga tanjagala.

Wabula nnakizuula oluvannyuma nti omuwal ono yali alinayo omuntu omulala eyali amupokera omusimbi era ng'amulidde omwoyo.

Natunulamu nga ndaba sisobola kuvuganya na basajja bagagga era ne nsalawo okwesonyiwa omuwala ono naye sikyejjusa kubanga kati nange nafuna dda ennamba yange empya enzikiririzaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...

Mutuulakungo alaze bwe yate...

OMUSAMIZE Mutuulakungo eyatendeka Augustine Yiga Abizzaayo okutetenkanya ekibuga alaze engeri gye yamubangulamu...

Balumbye Mayinja okuyingiza...

Abantu abenjawulo balumbye Ronald Mayinja okuyimba ng’awaana Museveni kyokka n’ayingizaamu Bobi Wine mu ngeri gye...

Musinga

Poliisi eraze enguudo ezige...

PULOGULAMU ya poliisi gye yafulumizza okulungamya eby’entambula ku luguudo lwa Jinja Road ng’abeegwanyiza obwapulezidenti...

Abakungubazi nga bayingira mu kkanisa e Kawaala.

Bazirise nga batuusa omulam...

EBIWOOBE n’emiranga byabuutikidde ekkanisa ya Revival Church e Kawaala ng’omulambo gw’abadde agisumba, Pasita Augustine...