TOP

Lwaki obwagazi bujja baze taliiwo?

Added 11th January 2020

BAZE akola safaali era ebiseera ebisinga tabeerawo. Naye bw’aba taliiwo nfuna embeera nga mpulira njagala kwegatta na musajja.

Abankwana weebali naye sikkiriza. Ate bw'akomawo ennaku nga ssatu nga mpulira sikyayagala ate ng'omwami wange mmwagala okukamala. Kino kiva kuki?

Obwagazi kya butonde era okugyako ng'olina ekikyamu naye buli musajja oba omukyala alina ekiseera ng'awulira alina obwagazi.

Era bw'omala ekiseera nga teweegasse owulira ng'oyagala kwegatta na musajja oba mukyala.

Mu basajja tebalinga bakyala obwagazi babuwulira nnyo okusinga abakyala ate abakyala balina ennaku mu mwezi we basuulira eggi era obwagazi bubeera bungi.

N'ekirala obwagazi businga mu bavubuka okusinga abakulu. Omukyala ow'emyaka 65 oba omusajja abeera n'obwagazi butono okusinga omuvubuka ow'emyaka 26.

Kati bw'olwawo okwegatta obwagazi bweyongera. Ekirungi nti osobola okufuga obwagazi. Ekyo kitegeeza nti oli mulamu era weebale kubeera mukyala mwesigwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...