TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja bwe yatandika okweraguza ne mmuviira

Omusajja bwe yatandika okweraguza ne mmuviira

Added 11th January 2020

NZE Lausa Kengasi 29, mbeera Sanga Matugga mu disitulikiti y’e Wakiso. Twasisinkana ne baze mu 2014 e Ziroobwe. Nnali nkola gwa kulima nga mpakasa ku kyalo ate nga baze akola gwa kwokya manda ng’agaleeta e Kampala okugatunda.

Engeri gye nnali mupakasi ku kyalo, n'ewaabwe nabalimiranga ne bampa ssente okumala akaseera awo we yatandikira okunkwana n'antegeeza nga bwe yanjagalirawo nga yaakandaba Twatwala akabanga naye oluvannyuma nnamala ne nzikiriza ne tutandika okwagalana.

Omukwano gwaffe gwatandikira mu ggiya era we twava baze n'ansaba tutandike okubeera fenna.

Olw'okuba nti ye yalina ku ssente okunsinga, nnakkiriza tubeere ffembi nga nnina essuubi nti osanga embeera yange eneekyukamu engeri gye nnali nfunye omusajja alina ku ssente ate ng'anjagala.

Emyaka ena gye nnamala naye, omukwano gwaffe gwali gutambula bulungi ne tuzaala n'omwana omuwala.

Wabula nga wayise ekiseera, baze yatandika okukyuka n'atandika okuboggoka n'okunkuba olutatadde wabula ne hhumiiikiriza wadde ng'embeera yatuuka ekiseera n'entabukako.

Baze yatuuka ekiseera n'atandika okugenda ku basawo b'ekinnansi okweraguza. Ebyavaamu byali bya kweyita musawo Muganda era ng'abantu bajja awaka nti bazze kubajjanjaba ekintu kye nnali sikkiriziganya nakyo.

Nze ndi mukyala akkiririza mu Katonda era seeraguzangako ate ng'alinga ankaka nange mwegatteko. Olw'embeera eyo nasalawo okumuviira era bwetutyo ne twawukana.

Wabula obuzibu bwe nsanze nti bwe nayawukana naye, n'agaana okuddamu okutuwa obuyambi n'omwana wange era ndi mu mbeera mbi kuba sirina mulimu ate ng'omwana atuuse okusoma.

Nsaba abasomi ba Bukedde okunnyamba nfune kye nkola nsobole okulabirira omwana wange.

Naye nsaba omulimu ogwo gubeere nga gunzikiriza okugenda ne nsaba ku Lwomukaaga kuba ye Sabiiti yange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...