TOP

Obucaafu bujja kugoba omusajja awaka

Added 15th January 2020

Omwami agamba nti ekisenge wakifuula kasasiro. Anti byonna by’okozesa mu nsonga zaffe otereka omwo, obuwale bwo obusonseka wansi w’ekitanda nga sibwoze, enkumbi era nazo bw’okola. Wansi w’ekitanda ate era w’otereka ebyokulya waafuuka sitoowa!

Omwami agamba nti ekisenge wakifuula kasasiro. Anti byonna by'okozesa mu nsonga zaffe otereka omwo, obuwale bwo obusonseka wansi w'ekitanda nga sibwoze, enkumbi era nazo bw'okola. Wansi w'ekitanda ate era w'otereka ebyokulya waafuuka sitoowa!
Mwana wange okusookera ddala ekisenge kifo kikulu nnyo mu bufumbo.

Ggwe ng'omukyala olina okulaba ng'ekisenge kyammwe kirabika bulungi era okiyonja okusikiriza omusajja okwegatta naawe oba okusobola okufuna obwagazi. Kati neewuunya lwaki okuuma by'okozesa mu nsonga nga paadi, obuwale obucaafu  n'enkumbi. Tomanyi kwoza oba oli mugayaavu?

Ate omuntu bw'akusanga mu kibuga oba onyiridde nnyo nga by'oyambadde byonna biyonjo. Ate ekinneewuunyisa kwe kutereka ebyokulya nga sukaali, omuceere n'obuwunga  wansi mu kitanda. Sigaanyi muli wafunda naye ate eyo gy'otereka si kyekifo ekituufu.

Mwana wange omusajja agenda kukuleka. Yang'ambye nti ekisenge kiwunya kivundu. Ate tomanyi na kuggula madirisa kale oluusu lusigala omwo.
Simanyi kye nnalekayo nga nkubuulirira ku mbeera z'omu kisenge, oba nnina kuddamu kubanga sikitegeera ate kiswaza nnyo omukyala omufumbo okukola ebyo ate nga mubuulirire. Oli mugayaavu oba olina ensonga lwaki okola bwotyo?

Era omwami yanga'mbye nti ennaku zino omugamba nti waliwo abaakugamba nti omusajja alina okuwunyiriza ekivundu mu kisenge aleme kukukyawa.
Nti era watandika okweraguza nti oyagala kukuuma musajja waka. Oba ani yakulimba nti ebivundu bikuuma abasajja awaka! Teri musajja ayagala bucaafu era abasinga bw'alaba ng'oyitirizza obucaafu afuna omukyala muyonjo oba yeewala awaka. Ekiva mu kwewala awaka, amaka gagenda gafa mpola mpola ogenda okulaba nga n'awaka talyawo mmere.

Abakyala abangi beebuuza lwaki abasajja tebalya waka naye ng'oluusi bucaafu. Agenda n'alaba obucaafu era n'ateebereza nti n'emmere gy'ofumba erina kubeera ncaafu.
Kale mwana wange olina okukyusaamu era nzija ku wiikendi nziremu nkusomese obuyonjo mu kisenge. Bye weeraguza si bituufu, abo baagala kukulemesa bufumbo bwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugenzi Dan

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...

Mwesigwa eyagudde mu bazigu mu Kampala ne bamukuba ne bamubbako n'essimu

Eyakedde mu Kampala bamukub...

POLIISI mu Kampala etandise omuyiggo okuzuula abavubuka abateega n'okukuba abantu abakeera mu kibuga okuyiiya....

Dr. George Kiwanuka

E Gomba bazuddeyo omulwadde...

ABATUUZE b'e Gomba basattira oluvannyuma lw'okuzuula omusuubuzi abadde abasuubulako ebirime ng'alina ekirwadde...

 James Kasozi Muwonhe ne muzzukulu we Allan Kazibwe

Omwana atemyetemye kitaawe ...

Omwana akkidde kitaawe n'amutemaatema ng'amulanga kugaana kumuwa mugabo gwe.