TOP

Omuwala anyirizza sitoma

Added 16th January 2020

NGA bwe bagamba nti, omukwano teguzibirwa kkubo, nange bwe kityo kyantuukako olwaba okuvubuka kubanga nange gwantandikirawo. Nze John Kamba, mbeera Gema - Miseebe mu Mityana.

Bwe nnali naakavubukamu, obutonde ne butandika okummanja era nagwa ku mwana muwala omulungi lwondo, olwaba okumulabako omutima ne gunkubirawo nga mu butuufu mmwegombye.

Ng'omuvubuka yenna omuvumu era atasiba zikweya nasalawo okutuukirira omuwala ono mu ngeri ey'obuwombeefu n'obwetoowaze era ng'ekyayongera okunsanyusa kyali nti, ne mwana muwala ono teyankaluubiriza kubanga kye nnamunnyonnyola yakitegeera mangu.

Oluvannyuma lw'okukwatagana n'omuwala ono nasalawo okumusaba ennamba y'essimu era naye yagimpa nga kino kyannyamba okwongera okwennyon nyolako okukkaatiriza obulungi ensonga yange.

Nga wayise akabanga katono, natandika okunyweza omukwano gwaffe era nga naye yatandika okunkolera ebintu ebinkakasiza ddala nti, munnange.

Omuwala ono n'okutuuka leero enkolagana yaffe yanywerera ddala era nga wadde sinnamuwasa naye andabirira mu bintu ebimu era nga n'oluusi angololera ku ngoye zange nange ne ntambula mu bantu nga nnyirira okwawukanako ne bwe kyali.

Ku muwala ono by'andaze nnyongera kumusabira Katonda buli lunaku ayongere  okunkuuma naye tugende mu maaso n'enkolagana yaffe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu