TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri gy'osiima laavu munno gy'akuwa

Engeri gy'osiima laavu munno gy'akuwa

Added 22nd January 2020

OKUSIIMA kikolwa kya bugunjufu. Ate mu nsonga z’omukwano kiraga nti oli musanyufu olw’ebyo munno by’akukoledde. Waliwo ebintu by’osobola okukola oba okukolera munno okumusiima olw’omukwano gw’akulaga.

Ye abange obadde okimanyi nti osobola okubeera n'omwagalwa wo naye nga takwagalangako oba okusiima omukwano gwo, nga bwe kituuka okwegatta atuusa mukolo? Kino olumu kiva ku kutereka busungu olwo omu n'agaana okusonyiwa n'okwerabira so ng'ate abamu abeera yakwagalako byabugagga.

Naye olw'okuba amaka ag'essanyu kye kirooto kya buli mufumbo oba alina omwagalwa we, waliwo ebintu by'oyinza okussa ku minzaani omwagalwa wo by'ayinza okukukolera n'okakasa nti asiimye omukwano gw'omuwa era ebya ‘Siri muyembe  toyinza kuddamu kubirowoozaako olwo ng'oyimba ‘Gutujja".

OMUKYALA BY'AKOLA OKULAGA NTI ASIIMYE

Hilder Muyanja ng'ono ye mukyala w'omubaka Jonhson Muyanja Ssenyonga (Mukono South) agamba nti ebintu bingi omukyala by'osobola okukolera omwami wo n'asanyuka nga byongera okukakasa nti ddala osiima munno omukwano gw'akuwa.

1 Okwebaza. Ekitonde kyonna ekisajja kyagala nnyo okukisiima n'okukisoosowaza. Mu kwebaza, wano abasinga baddamu ne bakuba ebirayiro nga beebaza okubabeererawo ne babongera ekisanja.

Kale okusiima n'okwebaza omwami wo kintu kikulu nnyo era kyongera okulaga nti osiimye ebyo by'akukoledde ne bwe biba bitono bitya.

2 Omukyala asaba bba okukyalako gye bamuzaala (omusajja). Omukyala bw'asiima 

omukwano gwa bba asobola okusaba bakyaleko gye bazaala omwami. Mu lugendo luno n'abazzukulu abeera ayagala balabe ku bajjajja naddala mu kiseera kino eky'oluwummula. Kino kiraga nti omukwano gw'alina naawe mwafuu

ka baaluganda. Nze omwami wange ampita ‘sister' kuba okusinziira ku bye tuyiseemu okutuuka wano twafuuka baaluganda, noolwekyo  okukyalira ku bazadde be nga tewaguddeeyo buzibu kyongera okulaga nti omukwano gw'andaga ngusiima.

3 Atandika okukubuulira ebyama bye yali akukuta nabyo.  Omukyala ssinga atandika okukakasa omukwano gwo atandika okukusoosowaza mu buli ky'akola.

Bw'aba yagula poloti oba nga yagifuna okuva ewaabwe nga yali takubuulidde awulira nga kimukakatako okukutegeeza n'akusaba ne ku magezi ku ngeri y'okugikulaakulanya.

Teri muntu atakwagala ayinza kukuteeka mu ssente ze oba mu bintu ebikulaakulanya. 4 Akwanjula mu mikwano gye n'abeηηanda.

Omukyala yenna akwenyumirizaamu afuba okukwanjula mu mikwano gye n'abeη− ηanda kubanga abeera 

akuteeredde ddala mu mutima gwe. 5 Okuzaala. Olw'okuba abakazi balina bingi bye bapimirako abaami abafaayo, bangi okukukakasa kino basooka kwegema kuzaala, ate bw'aba azaddeyo omu, asooka n'asibamu asooke yeetegereze.  Ssinga omukazi asiima omukwano olumu akusaba muzaale oba okuzza ku mwana ate abamu akubuulira amaze okufuna olubuto. 

6Afaayo nnyo ku ndabika y'omwagalwa we mu bantu n'okumusaasira. Omukyala asiima omukwano gwa bba afaayo ku ndabika ye.

Obuntu obutonotono omuli sitookisi, obuwale bw'omunda, vesiti, ettaayi, obutambaala ne kalonda yenna agwa mu kkowe eryo afuba okulaba ng'abirongoosa.

7 Ng'oggyeeko ebyo, emmere gy'amuifumbira n'okumugabula nayo nsonga nkulu. Omukyala asiimye omukwano gwa bba afaayo okulaba ng'amufumbira emmere ennungi era emuwoomera. Afaayo okulaba ng'omusajja tava waka nga talidde, era ne bw'aba akomyewo amubudaabuda ng'amugabula by'asinga okwagala.

ABASAJJA BYE  BAKOLERA BAKYALA BAABWE OKUBASIIMA

Geoffrey Lwanyaga Mukwaya ono nga ye kojja wa siteegi ya ttakisi e Mukono ku lw'e Bugerere agamba nti omusajja bw'asiima laavu mukazi we gy'amuwa akola bino; 1Okumutongoza.

Eriyo abakazi abamaze ebbanga mu bufumbo naye ng'abasajja baabwe tebabatongozanga. 

Ab'ekika kino omusajja abeera takyalangako wadde mu bakadde b'omukazi era nga tebamumanyi. Omusajja bw'asiima omukwano munne 

gw'amuwa ebiseera bingi mwe muva okukyala, okwanjula oluusi n'embaga. 2 Akutwalako awutu.

Omusajja asiimye munne by'amukolera ojja kwesanga ng'amutwalako awutu gamba nga mu woteeri olw'olumu ne balyayo ekyemisana oba ekyeggulo, mu bifo ebisanyukirwamu ate abeesobola amutwalako emitala w'amayanja n'awummulako. 3  Okumutonera ebirabo.

Omusajja bw'asiima laavu ya munne tekimugaana kumutonera emmotoka, ettaka, engoye, engatto oba ekintu kyonna okusinziira ku buzito bw'ensawo ye.  Kino kiri mu butonde era bw'oba n'omusajja nga talina kalabo konna ke yali akutonedde, manya nti ekirungo kya laavu kiyinza okuba nga kibulamu.

4 Okukuteekamu obwesige n'okukuteeka mu  byobugagga bye. Omusajja yenna asiimye omukwano gwo ayongera okukwesiga era kyangu okukuteeka mu byobugagga. Okugeza bw'aba awandiisa kkampuni ateekako amannya go, akuteeka ku byapa oba mu bizinensi z'addukanya.

5 Okulaga abaana omukwano. Abasajja emirundi mingi ensonga y'okulaga abaana omukwano tebagifaako nnyo. Wabula omusajja 

bw'amatira laavu ya mukazi we, tayinza butasoosowaza baana baabwe. Kino oluusi kitwaliramu n'abaana b'omukazi be yasooka okuzaala, oba abeηηanda ze. Kw'olabira nti omusajja tasiima laavu yo kwe kutandika okusosola mu baana b'atazaala n'okukugobya abeηηanda zo.

6. Okuzimba amaka. Kizibu omusajja asiima omukwano mukazi we okumuleka mu muzigo mwaka ku mwaka. Ne bw'aba talina ssente afuba okuyiiya waakiri n'amuteerawo akayumba mw'amuteeka. Mu kumuzimbira abeera amuwadde ekitiibwa olw'okumufunira ekifo ky'okubeeramu olubeerera.

7.Okufaayo ku bazadde b'omukyala. Nga bwe bagamba nti, "Erwanira obuko ekuuka ejjembe..," bwekityo omusajja asiimye omukwano yeeyongera okufaayo ku bantu b'omukyala ng'abayamba naddala we baba bazitoowereddwa naddala mu nsonga z'ensimbi.

8. Okutuukiriza endagaano n'ebisuubizo. Abantu nga baakalabagana batera okukola endagaano n'okwesuubiza. Kw'olabira omusajja ng'amatidde omukwano mukazi we gw'amuwa kwe kutandika okutuukiriza endagaano n'ebisuubizo bino. 

Bukedde 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono