TOP

Eddiini yannemesa ekyana

Added 22nd January 2020

ENSONGA z’eby’omukwano tezimbeeredde nnyangu okuviira ddala nga naakatandika eby’okwagala.

Nsanze okusoomoozebwa nti omukyala eyali ow'ebirooto byange gwe nafiirako era gwe nali njagala okuwasa ate saasobola kubeera naye olw'ensonga y'eddiini zaffe okuba nga tezikwatagana.

Nze Arthur Kijjambu 26, mbeera Mukono. Mu 2017 bwe nali nkyabeera e Ntinda, nnayagala omuwala eyali omunaddiini ennyo era nga yeeyagalira mu ddiini ye ey'Obusiraamu ate nga nze ndi Mukatuliki.

Twayagalanira ebbanga eriwera ne ntuuka n'okwagala okukyuka anti njagala nkyale ewaabwe abakadde bamannye kubanga twali tukkiriziganyizza okutandika obufumbo bwaffe.

Bwe natuuka ewaabwe w'omuwala, banyaniriza bulungi ne ndowooza nti buli kimu kyali kiwedde okuggyako kitaawe  eyanyaniriza nga bwankemba nga ssimanyi nsonga kw'eva.

Bwe twatuuka okwogerezeganya n'abazadde, taata w'omuwala yakantema nga bwe sisobola kuwasa muwala we okugyako nga nsiramuse kye nnalabamu obuzibu okukola kubanga ne bazadde bange baali 

tebasobola kunzikiriza. Oluvannyuma, omuwala yaddamu okuhhamba nga kitaawe bw'atayagala nsonga ya kuba nti ndi Mukatuliki newankubadde ye yali yeewaddeyo anjagale.

Yali muwala alina empisa, atafaayo ku nsonga ya ssente ng'abawala abalala bwe bali ennaku zino. Nabiyitiramu bazadde bange ne baganda bange ne batabuka ne bah− haana okuddamu okumuwuliza naye 

olw'omukwano omungi gwe twalina, twasigala tulabagana mu bubba naye nga tukimanyi nti tukola nsobi era ng'omukwano gwaffe tegulina gye gulaga.

Ekiseera kyatuuka taata w'omuwala n'amuteeka ku nninga ate nga naye tayagala kumunyiiza kwe kusalawo okunneesonyiwa nange ne mwerekereza  mu bulumi obungi kubanga twali twagalana.

Twamaliriza twawukanidde ddala kubanga tewali yali ayinza kukyusa ddiini ye kudda mu ya mulala. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...