
OYAGALA kumwetegula ogende wa? Omukyala ono gwe wamwefunira era kiba kirungi okubeera naye nga omubuulirira oba okufuna abantu abasobola okumubuulira.
Ennaku zino, kiba kirungi ng'olonda omukyala osooke kumwetegereza.
Weebuuze oba ddala asobola okubeera maama w'abaana omulungi. Ekyo abavubuka bangi temukifaako naye nga kikulu ng'onoonya omukyala ow'okuwasa.
Abawala abamu ennaku zino tebaagala kukola era bagayaavu. Abalala bakuze abakozi be babakolera awaka buli kimu.
Kati bw'ofuna ng'oyo nga mukyala wo, omanya nti olina okufuna omukozi anaakola buli kimu awaka.
Bw'osalawo okuzaala, olina okumanyi nti olina okufuuka maama naye abawala abamu kino tebakifaako Maama alina okuba n'obuvunaanyizibwa ku baana be ate era omukyala awaka.
Nkubira ku 0772458823 twogere.