TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Nagenda okuva mu kkomera nnasanga omuwala anzibye

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga omuwala anzibye

Added 26th January 2020

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.

Nnalina kasitoma wange nga mukyala naye ng'ajja n'angulako obugoye obunyirira naddala obuli ku mulembe kubanga yali mwambazi mulungi era okunyirira kwe kwampaliriza okumusonseka akagamba ate naye n'akkiriza.

Lumu nnali ku mulimu nga ntunda ngoye ku nguudo za Kampala, abaserikale abaali batatuukkiriza kukolerawo ne bankwata ne bantwala e Luzira gye nnamala omwezi mulamba.

Mu wiiki ssatu ezaasooka nga ndi Luzira, yasooka n'ajja okunambulako naye olumu yajja n'antegeeza nti landiroodi amubanja ssente z'ennyumba era yamugobye mu nnyumba nga yali atandise kubeera wa muganda we kyokka ng'alimba.

Ku bbanga ery'omwaka lye nnali mmaze nga mbeera n'omukyala ono, nnali simusuubiramu buyaaye era nga mwesiga.

Ku lunaku lwe banta okuva mu kkomera e Luzira, omukyala ono yajja n'annonako naye bwe twatuuka mu kibuga, kwe kuhhamba nga bwe yali agenda ewa muganda we era nange saamukaluubiriza ne mmuleka.

Yalowooza nti nnali hhenze kyokka nga nasigala mulinnya akagere okukkakkana nga ntuuse ku nnyumba gye yali apangisa nga n'ebintu byange byonna yabyezza.

Nagezaako okubimusaba n'agaana nange kwe kusalawo okumwesonyiwa.

Nakola ebintu ebirala ne nfuna n'omukyala omulala nga kati tulina n'omwana era obulamu butambula bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...