TOP

Ageemugga bagaggya wa?

Added 28th January 2020

Ssenga sirina mazzi ga kikyala kati omwami wange omukwano gwakendeera.

Ssenga sirina mazzi ga kikyala kati omwami wange omukwano gwakendeera. Omwami ono yandeka mu muzigo.
 
Nze nsasula ennyumba ndiisa omwana wange era okujja kwe ng'ayagala kwegatta nange.
 
Nkoze ntya ku mazzi kubanga agamba nti agenda kundekawo afune omukazi alina amazzi amangi.
Namugerwa e Kabimbiri
 
Teri mukyala azaalibwa nga talina buzobozi bwa kubeera na mazzi ga kikyala. Kati mu mbeera gy'olimu kizibu okufuna amazzi g'ekikyala.
 
Mu mutima okimanyi bulungi nti omusajja ono takwagala wabula akukozesa bukozesa. Ekirala oli mu buzibu kubanga omwami yakuleka mu nnyumba, gwe osasula ennyumba era gwe olabirira amaka kyokka bw'ajja okukulabako aba ayagala
kwegatta naawe kyokka mpozzi n'okukulangira nti tolina mazzi.
 
Kati onoofuna otya amazzi ng'olina ebirowoozo ebyo ku bwongo?
 
Abakyala abasinga tebamanyi nti balina ekizibu ekyobutafuna mazzi olw'ebirowoozo ebibeera mu bwongo nga weegatta. Kati ate ennaku zino abafere abangi abagamba
nti bagaba ensulo z'amazzi.
 
Kati buli mukyala n'anoonya ensulo z'amazzi. Okusookera ddala omusajja takwagala yeekwasa mazzi naye takuliiko. Naawe okimanyi bulungi nti ayagala kukozesa kyokka. Tandika okumwesonyiwa mu birowoozo ate alekere awo okukozesa mu mbeera ey'okwegatta naawe. .
 
Oluusi abakyala twesiba ku basajja nga tulowooza nti batwagala naye
okwegatta naawe tekitegeeza nti akwagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...