TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Baze yafunyisizza omuwala gw'atwala ku ssomero olubuto

Baze yafunyisizza omuwala gw'atwala ku ssomero olubuto

Added 11th February 2020

Baze yafunyisizza omuwala gw’atwala ku ssomero olubuto OMWAMI wange avuga sipensulo ng’alina omwana w’omugagga gw’abadde atwala ku ssomero buli ku makya wabula kirabika omwana amwagala.

Baze yafunyisizza omuwala gw'atwala ku ssomero olubuto

OMWAMI wange avuga sipensulo ng'alina omwana w'omugagga gw'abadde atwala ku ssomero buli ku makya wabula kirabika omwana amwagala.

Nawulidde nti omugagga yamutwala ku poliisi naye bwe nnamubuuza agamba nti alina emisango ku poliisi.

Omuwala yafuna n'olubuto era omugagga omuwala yamutwala ewa ssenga we. Ssenga nkoze ntya kubanga njagala tusenguke tuve ku kyalo kubanga mpulira nswala. Ekikulu mwana wange olina kusooka kumanya kituufu.

Oba ddala yafunyisa omuwala w'omugagga olubuto era ogenda kumanya. Mu kiseera kino omwami wo y'asinga okuswala. Naye ggwe omuswalirako.

Nkimanyi kiruma ab'oku kyalo ne bakulaba nga bakusongamu nti oyo ye mukyala w'omusajja eyafunyisa muwala w'omugagga olubuto era nti ensonga ziri ku poliisi.

Naye ate mwana wange abantu baliwo kwogera. Kati bwe munaasenguka ne gye mulaze nayo n'akwanayo omuwala omulala era nga musenguka.

Ono omwamiwo y'alina okuyiga okuswala era n'okwegendereza by'akola. Kyandibadde kituufu okuva ku kyalo ng'otegedde ekituufu.

Noonyereza omanye ekituufu naye kino tekikusengula era fuba kumubuulirira yeetereeze.

Omukazi alabika ambuzaabuza

Kisoboka omuntu okumala emyezi ebiri ng'agenda mu nsonga ate ng'ali lubuto? Oba omukyala ayinza obutagenda mu nsonga okumala emyezi ebiri nga tali lubuto?

 senga Ssenga

 

Omukyala ansobee olowooza tambuzaabuza Mwana wange kino kisoboka. Omukyala ayinza okugenda mu nsonga emyezi ng'ebiri naye ng'ali lubuto.

Oluusi wabeerawo okukyankalana kwa hormones mu bitundu ebizaala naye kino kibeerawo mu bakyala batono ddala era tekisukka myezi ebiri.

Kino omukyala bw'akifuna alina okugenda okulaba omusawo kubanga oluusi kisobola okubeera ekizibu.

Kale abakyala kirungi okubakubiriza okugenda okunywa eddagala.

Ate era kya bulijjo omukyala oba omuwala obutagenda mu nsonga ate nga tali lubuto.

Mubuuze ekituufu kuba ayinza okubeera nga takubuzaabuza nga gwe bw'ogamba.

 

Kisoboka omuntu okumala emyezi ebiri ng’agenda mu nsonga ate ng’ali lubuto? Oba omukyala ayinza obutagenda mu nsonga okumala emyezi ebiri nga tali lubuto? Omukyala ansobee olowooza tambuzaabuza Mwana wange kino kisoboka. Omukyala ayinza okugenda mu nsonga emyezi ng’ebiri naye ng’ali lubuto. Oluusi wabeerawo okukyankalana kwa hormones mu bitundu ebizaala naye kino kibeerawo mu bakyala batono ddala era tekisukka myezi ebiri. Kino omukyala bw’akifuna alina okugenda okulaba omusawo kubanga oluusi kisobola okubeera ekizibu. Kale abakyala kirungi okubakubiriza okugenda okunywa eddagala. Ate era kya bulijjo omukyala oba omuwala obutagenda mu nsonga ate nga tali lubuto. Mubuuze ekituufu kuba ayinza okubeera nga takubuzaabuza nga gwe bw’ogamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nannyonjo ng'agenda okulonda n'abalongo be.

Eee...mpise mu tanuulu okuw...

Mpise mu tanuulu okuwangula owa NUP, Nnaalongo Harriet  Nanyonjo owa  NRM,  bw'alojja bye yayiseemu okuwangula...

Oulanyah

Oulanyah alangiridde okwesi...

OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah agambye nti mwetegefu okuttunka ne Rebecca Kadaga ku kifo kya...

Capt. Zizinga waakuziikibwa...

MAJ. Olivier Zizinga 84, munnansiko eyali omuyambi wa Pulezidenti Yoweri Museveni mu nsiko gwe baalumiriza okumuwa...

Fr. Musaala.

Musaala awolerezza bannaddi...

FAAZA Anthony Musaala agambye nti kikyamu okukissa ku Klezia nti yeyuddeko NRM obutakola bulungi mu kalulu mu kitundu...

Pulezidenti Museveni.

Museveni mwetegefu okutabag...

PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni agambye nti mwetegefu okutabagana n’abooludda oluvuganya Gavumenti oluvannyuma...