TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omukyala bwe yatandika okukola n'akyuka

Omukyala bwe yatandika okukola n'akyuka

Added 15th February 2020

TUBADDE bulungi ne mukyala wange naye bwe yatandika okukola teri kuteesa. Mpulira yatandika n’okuzimba ewaabwe kati neebuuza mufumbo oba si mufumbo.

Yasooka kugamba nti alina okuzimba kubanga bwe mugoba alina okubeerako ne watandikira.

Namugamba nti kirungi n'omukyala okukola ebintu bye kuba era biddira baana be naye yandibadde angambako.

Ssenga amaka ndaba gagenda kunnema kuba munnange ali ku lulwe ate nga njagala tutambulire wamu.

Ennaku zino abakyala bwe bafuna ssente nga balowooza nti basukkuluma ku baami.

Omukyala omufumbo oba okola oba tokola osigala nga oli wansi wa mwami wo.

Kiba kirungi n'oteesa naye by'okola. Ate omwami nga ono bwaba akugambye nti tekirina buzibu okukola ebibyo naye olina okumubuulira kati siraba lwaki omukweka.

Abaami abalala atandika n'okulowooza nti mu maaso eyo ogenda kunoba n'atandika okwebuuza oba ali naawe oba nedda kuba embeera eno ereeta obuteesiga munno mu bufumbo.

Kino abasajja bangi bakifuna naye ekisinga obukulu kukuuma buntu bulamu.

Yogera n'omukyala ono omubuuze oba kituufu azimbye mu kyalo? Bwaba yazimba, mugambe nti kikuyisa bubi kubanga gwe ng'omusajja byonna by'okola obikola naye kati bwatandika okukola yekka kiraga nti ali yekka owulire ky'agamba.

Bw'olaba ng'akalubye olina okubuulira ku bantu b'omanyi nti abeesiga ku nsonga eno kubanga amaka agamu bwegati bwe gatandika okwonooneka. Nkubira essimu twogere, 0772458823.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sir Bob Mushikori

Akulira Abagisu aziikibwa J...

Abagisu bategese ennaku musanvu okukungubagira Umukuuka Sir Bob Mushikori eyafa nga January 4, 2021. Agenda kuziikibwa...

Anite ku ddyo ng'atwalibwa mu mmotoka ya poliisi eyamututte e Mukono

Eyatemudde mukwano ggwe n'a...

POLIISI eyogezza omukazi eyasse mukwano gwe n’amubbako omwana e Mukono n’amutwalira muganziwe mu bizinga by’e Kalangala....

Balooya ba Kyagulanyi, George Musisi (ku kkono) ne Fredrick Robert, muganda wa Kyagulanyi, Fred Sentamu Nyanzi (wakati), omuwandiisi wa NUP, Gen. David Lewis Rubongoya, n;omwogezi wa NUP, Jowel Senyonyi (ku ddyo).

Poliisi by'esazeewo ku kuva...

POLIISI ekkirizza okuva mu maka ga Kyagulanyi wabula n'etegeeza nti yaakusigala ng'emutambulizaako amaaso. Omwogezi...

Pulezidenti Museveni lwe yatongoza ekkolero lya METUZHONG erikola bbaasi e Namanve nga March 9, 2019.

Gavumenti by'egenda okukola...

OKUTANDIKA okukolera wano ebintu ebibadde bisuubulwa ebweru w’eggwanga n’okwongera ku bungi bw’ebintu ebitundibwa...

Fred Enanga.

Poliisi eyigga omuwala eyag...

POLIISI etandise okunoonya omuwala, Unique Kobusigye gw’erumiriza okusaasaanya amawulire ku kyasse Omusumba w’e...