
BUUZA SSENGA
Obatya kubanga okyali muvubuka. N'ekirala ennaku zino n'abasajja abakulu batya abakyala.
Abakyala abamu balina obuzibu bw'okubeera abenzi, okwagala ennyo ssente, empisa ensiiwuufu, okuyomba n'ebirala by'omanyi.
Naye ekirala kya butonde okubeera n'ensonyi era n'okutya abawala ng'okyali muvubuka. Wabula omusajja bw'akula afuna obuvumu obutuukirira abakazi n'obukodyo mw'oyinza okuyita okubasendasenda n'obamatiza.
Mpozzi okutya kw'olina okubeera nakwo kwa siriimu n'endwadde z'obukaba. Kyamagezi okusooka okwetegereza omuwala oba omukazi nga tonnaba kufuuka muganzi we.
Kino n'abawala oba abakyala balina okukikola.
Nga tonnaba kwemalayo sooka weetegereze omuntu. Ennaku zino ebbanga ery'okumanya ttono ddala
. Olw'embeera eno obufumbo tebulwawo. Kale okusooka okutya kulungi. Sooka weetegereze.