TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Tulina abaana 5 naye mukazi wange akyayagala okuzaala!

Tulina abaana 5 naye mukazi wange akyayagala okuzaala!

Added 3rd March 2020

Mukyala wange azaala bubi naye tulina abaana bataano. Namugamba nti omwaka guno saagala tuddemu kuzaala, naye alowooza nti njagala kufuna mukyala mulala.

Mukyala wange azaala bubi naye tulina abaana bataano. Namugamba nti omwaka guno saagala tuddemu kuzaala, naye alowooza nti njagala kufuna mukyala mulala.

Ssenga ssaagala kufiirwa mukyala ono mu kuzaala kubanga baana bangi ate ennaku zino teri asobola kulabirira baana nga si babe. Nkoze ntya njagala okwekomya naye era agamba nti sirina kwekomya.

Ebikwata ku kwekomya okuzaala byonna mbimanyi era abasawo nabalaba ne nkola ne apoyintimenti.

Mwana wange weebale kumanya buvunaanyizibwa. Bakyala batono ddala abaagala okukoma okuzaala.

Naye nga tebakimanyi nti okuzaala baana abangi oba obutazaala bulungi n'okomayo buli kiseera oba ogezesa Katonda.

Oba oyagala kwekomya nga buli kimu okimanyi genda weekomye. Era mubuulire nti ogenda kwekomya, omugambe nti ayagala asigale nga mulamu awangaale akuze abaana be era naawe omulabeko era okikoze lwa kumwagala.

Abantu abasinga okwekomya okuzaala balowooza nti amaanyi g'ekisajja gaggwamu. Era basajja bangi batya okwekomya. Ate bakyala nga bwogambye balowooza nti singa beekomya omusajja agenda kuzaala abaana abalala.

Bangi tebakimanyi nti abasajja bangi ennaku zino tebaagala kuzaala era bangi basudde obuvunaanyizibwa bw'abaana ne babulekera abakyala.

Ate baana bange abawala mutandike okulowooza ku bulamu bwammwe. Okuzaala oba obutazaala tekisobola kugaana musajja kuzaala baana balala bbali.

Naye ate obulamu bwo obulowoozaako otya? Okuzaala abaana abangi buzibu, okuzaala nga okuze buzibu, okuzaala obubi buli kiseera nabwo buzibu. Kaati bw'ofa abaana bo obaleka mu buzibu. Ate mwana wange ozaddeko lwaki ogezesa Katonda. Muffe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...

Omugagga Hamis Kiggundu ng'annyonnyola

Omugagga Ham azzeemu okuttu...

OMUGAGGA Hamis Kiggundu amanyiddwa nga Ham agonzezza banka n'ekkiriza okuggyawo omutemwa gw'okusooka okusasula...