TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Lwaki ova awaka n'olekawo abaana nga toyogedde gy'ogenze?

Lwaki ova awaka n'olekawo abaana nga toyogedde gy'ogenze?

Added 3rd March 2020

WATANDISE omuze ogw‛okubulawo awaka nga tobuulidde muntu yenna. Ogenda n‛omala olunaku lwonna nga toli waka, kyokka ng‛abaawaka tebamanyi gy‛olaze.

EBBALUWA YA SSENGA

WATANDISE omuze ogw‛okubulawo awaka nga tobuulidde muntu yenna. Ogenda n‛omala olunaku lwonna nga toli waka, kyokka ng‛abaawaka tebamanyi gy‛olaze.

Kati ate bwe bakuba ku ssimu yo togikwata ate ng‛oluusi awaka wabaawo ebizibu kubanga omukozi Lwaki ova awaka n'olekawo abaana nga toyogedde gy'ogenze? omuleka n‛abaana.

 

Kitaawe yakomyewo okuva safaali nga toliiwo.

Okukuba ku ssimu yo nga tokwata.

Kati ddala obeera wa? Abaanabo baakulopye nti obalekawo n‛ogenda n‛okomawo nga beebase ate olumu tewakomawo.

Haa.., mwana wange simanyi ky‛oliko naye embeera eyo sirowooza nti waliyo omusajja asobola okugumiikiriza.

Kubanga ekisookera ddala bw‛ova awaka olina okubuulira abantu b‛obeera nabo gy‛olaga.

Ekirala, bw‛otambula olina okuwuliziganya ne b‛olese awaka kubanga baana bo ate n‛ekirala olina omwana omulwadde kati omanya otya oba afunye obuzibu? N‛ekirala bw‛otobuulira bantu gy‛olaze kitegeeza nti toyagala bamanye.

Ekyo kitegeeza nti oyinza okuba ng‛olina emize emibi gy‛okola ng‛ovudde awaka.

Wembuuliza nti oba ogenze wa? Abaana baffe baabuulidde bbaffe byonna by‛okola nga taliiwo.

Obaleka awaka n‛olwayo ate olumu mbu tewakomawo.

Mwana wange olabika otandise obwenzi.

Oba si kyekyo olina ky‛okola ekiro ekikugaana okudda awaka.

Naye omukyala omufumbo nga lwaki osula ebweru nga n‛omwamiwo tamanyi w‛osuze. Ate n‛oleka abaanabo ne basula awaka bokka n‛omukozi? Ye ng‛oli mugumu bulala! Neewuunyizza engeri gy‛osula ebweru ng‛olina n‛omwana omulwadde awaka.

Okusookera ddala olina okuyiga obuvunaanyizibwa.

Munno agenda safaali n‛akuleka n‛abaana n‛akuwa buli kimu ng‛ayagala obeere ng‛olina emirembe osobole okulabirira abaana.

Naye n‛ototya n‛ova awaka mu kyama nga ddala olowooza abaana basiru. Mwana wange weddeko.

Emize gy‛otandise si mirungi n‛akamu era omwami waffe alowooza nti otandise okwenda. Oba osobola mwetondere era toddamu okuva awaka nga tolina gw‛obuulidde gy‛olaga.

Omwami alina okumanya, olina essimu ate ne ‘airtime‛ ateekako, mukubire omugambe.

Okusula ebweru kiveeko kityoboola amaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salvado ne Daphine nga bakung'aanya ebirabo.

Kazannyirizi Salvado ne Dap...

Kazannyirizi Salvado akiggadde mu sitayiro. Akubye kabiite we Daphine embaga ne yewaana. '' sikyali mu kiraasi...

Aboobuyinza nga bakunya omukazi.

Abatunda eddagala nga tebal...

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority kikoze eki kwekweto mu Buvanjuba...

Minisita Betty Amongi

Abasuubuzi be Nakasero bawa...

ABASUUBUZI ababadde baddukanya akatale k'e Nakasero bavudde mu mbeera ne bawa minisita wa Kampala n'ekitongole...

Nsereko Mutumba

Hajji Mutumba alabudde abak...

ABADDE omwogezi w'ekitebe ky'Obusiraamu e Kampalamukadde ekya Uganda Muslim Supreme Council Hajji Nsereko Mutumba...

Abatuuze nga bali mu kkooti e Nabweru.

Abakolera ku ttaka lya Gavu...

OMULAMUZI ow'eddaala erisooka ku kkooti y'e Nabweru, Ssanyu Nalwanga Mukasa akkirizza abantu 17, abaakwatibwa ku...