
Nasta ng’aloola ne bba Ndugga oluvannyuma lw’okuwoowebwa.
Nasta Namuli 32 eyakyaka ku mikutu gy'empuliziganya nga yeewaana nga bw'alina ffiga n'okumanya omukwano oluvannyuma lw'okulabikira mu Banoonya ba Bukedde yayanjudde mwana munne Isma Ndugga mu kitiibwa.
Emikolo gyakoleddwa mu ngeri ey'enjawulo nga baasoose kwanjula ne bazzaako okubawoowa ne bba Isma Ndugga oluvannyuma ne basiba kadaali ku mbaga yaabwe eyacamudde abalabi.
Omukolo gwetabiddwaako abantu bangi abaabadde bamukubira enduulu z'oluleekereeke nga kwe batadde n'okumuwaana buli we yabadde alabikirako eri abantu.

Nasta Namuli Nakaggwa eyalabikira mu banoonya mu 2016, agamba nti okufuna omusajja lubadde lutabaalo lwennyini kuba kubaddemu okusoomooza kungi ddala.
Anyumya bwati; Nafuna amasimu mangi ddala ng'abamu ku basajja ssi bamalirivu, ate abamu tebali ku mulamwa ekyampaliriza okukiwaamu obudde.
Lumu nafuna omusajja n'ajja mu bakadde bange n'ebintu ng'ayagala antwalirewo kyokka bwe namugamba ku ky'okwekebeza omusaayi n'agaana era awo ebyange naye we byakoma.
Mu bankubira essimu mwe mwali n'omwami wange Isma Ndugga yali musajja mubalagavu, mukkakamu ate ng'ayogeza bumalirivu n'antengula omutima. Bakadde ba baze baasalawo okusooka okugenda okukyalira bakadde bange.
Nga biwedde baatandikirawo okukola ku nteekateeka y'okwanjula wamu n'embaga okutuusa emikolo bwe gyakoleddwa. Ndi musanyufu okuba nga Bukedde enfunidde omwami alina ebisaanyizo bye nneetaaga era nja kumwagala nnyo muzaalire n'abaana omuli n'abalongo.

Ate Isma Ndugga 30 omutuuze w'e Najjanankumbi ku lw'e Busaabala nga muzimbi agamba nti Nasta yamulabira mu banoonya n'amwegomba ekyamuwaliza okumulemerako asobole okumwewangulira.
Emikolo gyonna okugikola omulundi ogumu kyakoleddwa okusobola okukekkereza ebiseera n'ensimbi.
Nneebaza Bukedde okumufunira omukyala.