TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abaalabye ekiteeteeyi kya Rema bakyatenda

Abaalabye ekiteeteeyi kya Rema bakyatenda

Added 10th March 2020

EKITEETEEYI kya Rema Namakula kicamudde abadigize ate ne kireka abamu nga bawuniikiridde. Bwe yabadde ayimba mu kivvulu kye ekyabadde mu Freedom City ku lunaku lw’abakyala, ng’oggyeeko okukuba abawagizi be emiziki egy’okumukumu egyabafuukuddde, mu birala ebyacamudde gye misono gy’engoye Rema bakira gy’akyusa

 Rema yakyusizza emirundi egiwera.

Rema yakyusizza emirundi egiwera.

Yasookedde mu ‘jumpsuits' eya ‘siriva' ku ngulu ng'ateereddeko akakooti akawanvu akaddugavu nga kakweya wansi.

 

Yayimbye ennyimba ttaano ez'okumukumu oluvannyuma n'ava ku siteegi n'alekako King Saha. Rema yakomyewo mu sitayiro bwe baggyeeko amataala gonna okuziyiza abantu okulaba ekyabadde kigenda mu maaso era mu kiseera kino waabaddewo akeetalo ng'abayambi ba Rema bamuleeta ku siteegi.

Yazze ayambadde ekiteeteeyi ekinene, ekiddugavu ekyetooloovu nga kiwaniriddwa abantu mukaaga.

Olw'obuwanvu bw'olugoye luno baamuteereddewo obumeeza kwe yalinnye era buno bwabulidde mu munda mu kiteeteeyi.

Oluvannyuma lw'eddakiika nga ttaano bazzizzaako amataala era wano obwedda buli akuba eriiso ku siteegi nga yeewuunya Rema kye yabadde ayambadde.

 

Yamaze eddakiika nga 30 ng'ayimiridde mu kifo kimu nga w'ayimbira olw'obuzito n'obunene bw'ekiteeteeyi kino.

DIZAYINA WA REMA AYOGEDDE

Fatumah Asha eyatungidde Rema ekiteeteeyi kino yategeezezza nti guno mulundi gwakubiri ng'ayambala omusono guno.

Ogwasooka yali ku kivvulu kye ekyali ku Africana omwezi oguwedde. Fatumah agamba Rema yamutuukirira n'amusaba okubaako olugoye lw'amutungira oluyinza okumulabisa nga wanjawulo naye kwe kumutungira dizayini eno eyitibwa ‘Cinderella' Kyatungiddwa mu matiriyo wa ‘Crape' nga kiriko obuwanvu bwa mmita 40 era agamba basobola okutunga ekisingako ne wano obuwanvu okusinziira ku muntu ky'ayagala.

Fatumah agamba ekiteeteeyi kino si kya ku siteegi kwokka, omuntu asobola okukyambala ne ku mikolo emirala.

Ate munnabyamisono Rebecca Nalunga yasoose kusiima kiteeteeyi kya Rema n'agamba nti kyamulembe era kyamulabisizza ng'omuyimbi owa kkiraasi kyokka yakyambalidde mu kifo ekizibu.

Nalunga agamba omusono nga guno gunyumira ku bubaga oba ebivvulu eby'abantu aba kkiraasi nga bali mu kifo eky'ebbeeyi nga Serena.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...