TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebintu ebinyweza omukwano abaagalana bye basuulirira

Ebintu ebinyweza omukwano abaagalana bye basuulirira

Added 10th March 2020

EBISEERA ebisinga abaagalana bwe balwa mu bufumbo ebintu batandika okubiraba ng’ebya bulijjo.

Namata

Namata

Ekivaamu bwe bufumbo obutanyuma era oluusi ne batuuka n'okwawukana. Ebintu ebimanyiddwa okunyweza obufumbo n'omukwano babivaako olwo buli omu n'atuuka nga takyafaayo eri munne.

Ebimu ku bintu abafumbo bye batalina kusuulirira mulimu; 1 Okwogerezeganya. Abantu batono abafaayo okusomera ebbaluwa mu bbaasa.

Kino kitegeeza nti kikulu okubuulira munno bw'owulira, ebikunyiizizza ne kalonda omulala. Ssinga buli omu asirikira ekimuluma, kwesanga ng'omukwano gufa mpolampola.

Tokitwala nti olw'okuba omuntu oludde naye olwo omutegedde, kubanga abantu bakyuka, era n'ebibanyiiza n'okubasanyusa bikyuka.

2 Munno mutwale ng'ekintu ekikulu mu mbeera zonna.

 amata Namata

 

Abantu bwe bamanyiira okubeera ne bannaabwe, beesanga ng'ebintu ebimu tebakyabitwala nga kikulu.

Okugeza, munne bw'abaako ky'amukoledde, ayinza n'obutamwebaza ng'alowoozaa nti kya bulijjo.

Kino bwe kigenda kikula weesanga nga kikosezza omukwano gwammwe. 3 Weewale okulondoola munno n'okumumalako emirembe.

Okubeera mwembi kikulu, naye olina okukimanya akaseera abeereko yekka nga yeefumiitiriza ku nsonga ez'enjawulo.

Munno bw'oyitiriza okumulunda ajja kutuusa ekiseera akwetamwe.

4 Weewale okwefeebya.

Kino kisinga kubeera ku bakazi. Bw'aba akyanoonya oba nga yaakafuna munne afuba okwenyiriza n'okwerabirira mu ngeri ey'enjawulo.

Wabula bw'atuuka mu maka olwo ng'ebyokwefaako abiviirako ddala. Ne ku ludda lw'abasajja abamu bwe baba bakyakwana beerabirira bulungi, ne bakuuma n'obuyonjo, wabula bw'aleeta munne awaka olwo nga byonna abivaako.

Abamu batuuka n'obutanaaba nga bawoza nga bwe bakooye ennyo.

5 Mubeeko ebintu bye mukola mwembi. Okugeza mwemanyiize okulaba fi rimu oba ttivvi mwembi, mugende mwembi mu ssinzizo, mu bivvulu, mufumbe mwembi oba ekintu kyonna. Kino kijja kwongera okubagatta.

6Kkiriza bw'oba mu nsobi era weetonde. Kino kiyinza okuzibuwalira abamu naye ate nga kikulu nnyo. Buli lwe weetonda kyongera okulaga munno nti omwagala era n'omukwano gwammwe oguwa ekitiibwa.

7 Munno musseemu obwesigwa. Buli lw'amanya nti omwesiga, kijja kubayamba okutambuza obufumbo bwammwe.

Bw'olaga nti munno tomwesiga naye kijja kumubeerera kizibu okukwesiga, so ng'obwesigwa mpagi nkulu mu kutambuza omukwano n'obufumbo.

8 Fuba okulaba ng'ebyedda tobiyingiza mu mukwano gwammwe.

Bwe mwesanga nga mulina ensonga ezaabatabula oba ezaabakaluubiriza mu biseera by'emabega, tobikulembeza buli kiseera. Bwe muba mufunye obutakkaanya, munno tomujjukiza byayita kubanga bijja kwongera okubazza emabega.

Ebyayita bireke, otunuulire ebijja mu maaso.

9 Mubeera n'ebiruubirirwa ebifaanagana.

Kino kijja kubayamba mwembi okubikolerera. Abaagalana abalina ebiruubirirwa eby'enjawulo kijja kubabeerera kizibu okuwangaaza obufumbo. Okugeza omu bw'aba ng'ayagala kukola amaka agatebenkedde, ate nga munne alowooza kucakala kijja kubabeerera kizibu okukwatagana n'okugenda mu maaso.

10 Kirungi okubeera owaamazima eri munno. Abantu abamu baamanyiira okutambulira mu bulimba, wabula olina okukimanya nti buli lw'olimba munno n'akimanya ojja kwesanga ng'omukwano guseeseetuse.

Edith Mukisa omukugu mu kubuulirira abafumbo yayongedde okukkaatiriza ku nsonga zino; "Buli lwe mubeera mu maka buli omu abeera n'ebigendererwa by'asuubira okufuna mu munne.

Abasajja baagala nnyo okubayonja, okubafumbira obulungi, obwetoowaze, akaboozi akalungi, maama omulungi ate n'omuntu ayaniriza abagenyi. Ate abakyala baagala nnyo okuwuliziganya, okubafaako, okubawa obudde, okubasiima nga bakoze ekirungi n'okubakwata ng'abaana.

Bino byonna mu kusooka bibeerawo naye bwe mugenda mukulana bikendeera era n'omukwano awo we gufi ira.

Ebiseera ebisinga abaagalana beerabira obuyonjo bwe baatandika nabwo naddala abakyala.

Effumbiro balirekera abakozi ne batafaayo kulaba kigenda mu maaso ye olulaba emmere ng'amaze Omusajja yenna bw'asalawo okuwasa abeera n'ekiruubirirwa ky'okulya ku mmere ennungi so omukyala ne bw'oba n'ebyokukola nga bingi, fuba okulaba nti ofi ssaawo obudde obufumba enva kuba ze ziwoomesa emmere ate buli kaseera kyusa ebirungo ofeeyo okulaba nti ebintu ebiddugala tebisulawo kuba biwunya, ate abasajja ebiseera ebisinga bakeera, noolwekyo buli lw'abisanga aggwaamu amaanyi.

Ebinyweza omukwano abaagalana bye basuulirira

Olina okukuuma obuyonjo bw'ekisenge kyo n'omwami wo nga ggwe bwe weefaako buli kaseera faayo okulaba ng'okyusa endabika y'ekisenge kyo ate n'omwami fuba okulaba nga buli bw'afuluma mu nnyumba abeera anyumye kuba bw'agenda banne ne bamuwaana addamu amaanyi n'omukwano ne gweyongera.

Ekintu ky'omanyi nti tojja kumalako nakyo si kya magezi kukitandiikiriza.

Okugeza, bamulamu bo abakyala ennyo balagirewo mu kusooka nti tolina nnyo budde bwa bagenyi.

Oluusi osobola n'okubabuulira ennaku z'owa abagenyi kuba si kirungi kubalaga nti wooli ate mu maaso ne weecanga kuba awaka bakyalawo lwakuba wooli.

Fuba okusanyusa omusajja mu kisenge aleme kuwankawanka manya engoye z'oyambalira mu kisenge, olulimi lw'okozesa ate buli kaseera beerayo ne sitayiro empya awo omusajja abeera yeesunga ky'anaasangawo buli lw'akomawo era tajja kulwayo.

Faayo okulaba nti tobeera na nviiri ziwunya ate ttawulo n'essuuka byoze buli luvannyuma lwa nnaku ssatu awo omusajja obeera omwongera obwagazi.

Abasajja mu kusooka basuubiza ebintu bingi oluusi ne bibalema okutuukiriza naye wadde bigaanyi, munno mugambe nti munnange nnaakusuubiza emmotoka naye bigaanyi awo afuna amaanyi nti wali okitegeeza so tewamala googera era aguma mu mutima nti okimanyi era okirowoozaako osanga luliba olwo olikituukiriza.

Ebiseera ebisinga abasajja kasita akuteeka awaka ebintu bye yakolanga nga mukyekwana abyerabira ate nga bye bikuuma omukwano gw'omukazi.

Obuntu obutonotono ng'obulabo, obubaga bw'amazaalibwa n'ebirala bizzaamu nnyo abakazi amaanyi era bye bibasiba mu maka, noolwekyo olina okusigala ng'obikola ne bwekaba katono katya nga sswiiti era kagule.

Mu kusooka abasajja omukwano bakola gwa kajanja ne batakimanya nti abakazi babeera siriyaasi era asuubira nti nga bw'omuyisizza mu ntandikwa bwe mujja okutambula.

Abasajja batandika bakomawo mangu awaka naye bwe bamala ne bakyusa obudde kyokka nga munne yamumanyiiza obutalwayo.

Noolwekyo buli lw'ogenda ng'oyongezaayo obudde ne munno omukwano gumukendeerako kuba abeera yakwetegekedde mu kulya ne mu kisenge naye bw'akulinda n'akoowa ng'olwo omukwano guseebengerera.

Abaagalana bonna mulina okuyiga ebigambo ‘nsonyiwa, weebale, bambi'. Omukyala kikukakatako okwebaza omwami okumalayo ebisale by'essomero, okugula ebintu by'awaka, obulabo bw'akugulira obw'enjawulo ne bw'aba sswiiti mwebaze ate weetoowaze.

N'omusajja buli lw'omala okulya weebaze mukyala wo okufumba, buli luvannyuma lw'akaboozi mwebaze olwo omukwano teguggwaawo mangu kuba buli omu waakiri abeerako n'akenjawulo k'alaba ku munne era nga tayagala kukasubwa." BULI muntu ateekeddwa okukimanya nti engoye ezisooka ku mubiri zirina kulabirirwa nga kalira ka mwana.

Olw'okuba ze zisooka ku mubiri gwo, zituukirwako ebbugumu lingi ekizireetera okukaddiwa amangu.

Era abakugu bagamba nti omuntu gy'akoma okubeera n'engoye zino nga ntono gye yandikomye okwanguwa okuzikyusa.

Kubanga gy'okomya okuzambala nazo gye zikoma okunaanuuka. Abasawo bagamba nti akawale akomunda tekandiyambaddwa kutuuka we kanaanuukira kufaanana katimba ng'akakwata ebyennyanja.

Era embeera eno bw'etuuka, gy'otera okulaba ng'omuntu asala makansi; ekitayinza kubeerawo ng'akawale kano ak'omunda kakyali kagumu bulungi.

Era aba kkampuni ya Parfait Lingerie nga ye kkampuni ekulembedde mu by'omutindo mu by'obuwale obw'omunda bagamba nti obuwale buno ssinga omuntu aba abuguze mu nkola ya ddaziini; yandibadde agula eddaziini emu buli myezi mukaaga.

Kino bwe kyandibadde ne ku buleega, ppeti, sitookisi ne vesiti. Kyokka era kino nga kiri nti buli lw'onaaba okyusa akawale kano, era k'obadde oyambadde n'okooza. Abantu bangi bakaluubirirwa okwoza obuwale buno ne babutuuma awo, ate oluvannyuma ne batandika okuddamu okubwambala nga wayiseewo akaseera kyokka nga tebabwozezza.

Wano we baweera amagezi nti ne bw'oba onaabye misana nga tezinnatuuka ssaawa za kwebaka, era kyusa akawale k'omunda, oyambale akalala.

Olwo okunaaba kwo lwe kujja okugasa omubiri gwo. Era bagamba nti kyandibadde kirungi okwambala obuwale buno nga bukoleddwa mu ppamba, kubanga awo buba busobola okufuga ebbugumu eriyinza okuyitirira mu bitundu bino.

Ebinyweza omukwano abaagalana bye basuulirira Beatrice Bbosa e Zzana: Abasajja balina omuze mu kusooka akulaga nti gwe wekka era ng'akwagala nnyo kyokka bw'akumanyiira n'atandika okukutwala ng'atakyalina mugaso n'ekitiibwa nga takyakikuwa olwo n'atandika n'okukomboozaayo abalala awo n'omukazi omukwano gw'alina gugenda gukendeera kuba omusajja abeera takyamuwa kitiibwa.

Engoye ezisooka ku mubiri zirabirire bulungi Obuwale bwa ppamba tebukwasa bbugumu. Akawale n'akaleega ebifaanagana bisikiriza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza.

▶️ Fr. Musaala ng'akulembed...

▶️ Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza mu Lutikko e Lubaga.

Abamu ku ba NUP e Jinja.

Aba NUP bamalirizza olusiri...

PULEZIDENTI wa NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu asabye bannakibiina abalondebwa ku mitendera egy'enjwulo naddala...

Ennyanja ya Kabaka.

Abadde adduka ekikwekweto a...

ABADDE adduka ekikwekweto kya poliisi ne LDU mu Ndeeba agudde mu nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba n'afiiramu. Brian...

Ggoolokipa wa KCCA Charles Lukwago ng’abuuse okulemesa aba Villa okumuteeba.

KCCA ne Villa zeenyooma

Egyazannyiddwa mu liigi URA 3-1 BUL Kitara 0-3 Vipers Leero (Ssande) KCCA - Villa, Lugogo 10:00 KCCA ne...

'Drone' etomedde akatimba k...

Abantu abawerako balumiziddwa takisi ekika kya Drone nnamba UBJ 598 P ebadde eva e Mutukula - Kyotera okwolekera...